AKAKIIKO akavunanyizibwa ku kukungaanya emmere n’obuyambi obulala bwonna (Relief Committee) mu Disitulikiti ye Mukono kabikkudde ekyama nga bwe bagenda okutandika okugaba emmere ebadde ekunganyizibwa okuva omukulembeze we Ggwanga lwe yayisa ekiragiro okuyimiriza emirimu gyonna olw’okwewala okusasaanya ekirwadde kya COVID 19 ekitadde ensi yonna ku bunkenke.
Akakiiko kano akakulemberwa eyaliko omumyuka wa Ssabaduumizi wa Poliisi era nga mutuuze mu mukono Fred Yiga, era nga kaliko n’abebyokwerinda bonna abakulemberwa RDC Fred Bamwine kalondebwa okukwasaganya emirimu gy’okusolooza obuyambi bwonna saako n’okubutuusa ku bantu abo bennyini ababwetaaga mu kiseera kino.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Disitulikiti e Mukono akulira akakiiko kano Fred Yiga agambye nti mu kiseera kino bamaze okufuna olukusa okugaba emmere okuva mu offiisi ya Sabaminisita nga emitendera bwe giri, nagamba nti olunaku lw’okubiri ku makya bagenda kutandika kawefube w’okutuusa emmere ku bantu abawejjere mu maka gaabwe.
Yiga agambye nti ekituufu abantu ab’omutima omulungi bawaddeyo emmere ne bikozesebwa ebilala kyeyagalire okusobola okuyaambako abantu mu kiseera kino abalumwa enjala, evudde kukuba nti tebakyakola.
“Ekyamazima kati emmere gye tulina emala okutandika okugaba, yadde nga tukyetaaga nyingi nnyo endala okusinziira ku muwendo gwa bantu gwe tusuubira okutuukako mu maka gaabwe.
Tukubiriza bonna abalina kye bayinza okuyambako mu mbeera eno okututuukirira tukwasaganyize wamu okulaba nga abantu baffe bafuna eky’okulya.
Naffe tetutudde butuuzi kubanga tumaze okuwandiikira abazira kisa naddala mikwano gyaffe mu Mukono, okusobola okutuyambako okulaba nga tukungaanyiza ddala emmere nnyingi abantu abali mu bwetaavu basobole okufuna akokulya” Yiga bwe yagambye.
Yayongeddeko nti mu kiseera kino tebayinza kulaalika kitundu gye bagenda kutandikira kugaba mmere nga ogwo omulinu bagenda kugutunulamu kiro kya mande, kumakya nga bukedde olw’okubiri balyoke balangirire.
Ye RDC wa Mukono Fred Bamwine yagambye nti abagenda okufuna ku mmere eno be bantu abaali bakola mmere ya leero abaayimirizibwa ku mirimu gyabwe, saako nabalwadde abatesobola kunoonya kyakulya mu kiseera kino.
Yagambye nti abagaba emmere bagenda kugenda nju ku nju nga bagaba gwe banasanga nga taliiwo tebajja kumulinda kubanga ekiseera kino basuubira abantu bonna okubeera mu maka gaabwe.
Yebazizza abantu ab’omutima omulungi abasobodde okuwaayo emmere ne bikozesebwa ebilala omuli emifaliso n’obutimba bwe nsiri, naasaba abalala nabo kutuukirira offiisi ye basobole okuyamba ku bannaMukono mu kiseera kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com