EKITONGOLE ky’obwanakyewa ekimanyiddwanga Katosi Inter-Community Development Alliance KIDA kitandise kawefube w’okusomesa abantu b’omukitundu kya maserengeta ga Mukono (Mukono South) ebikwata ku kirwadde kya Covid 19.
Bano bagamba nti ekituufu abantu b’omubyalo babadde tebannaba kumanya mawulire matuufu agakwata ku kirwadde kino nga n’abamu kubo bagamba nti obulwadde buno bukwata bantu ba mu bibuga bokka.
Omukwanaganya we mirimu mu kitongole kino Tonny Kabuye agamba nti kawefube ono baamutandikidde mu Ggombolola ye Nakisunga, Ntenjeru Kisoga Town Council, Katosi nga mu kiseera ekiddako baagala kugenda mu Mpatta ne kubizinga bye koome, okutuusa nga ekitundu kya maserengeta kyonna kimatidde amawulire agakwata ku kirwadde kino.
Kabuye agamba nti bakizudde nga ekitundu kino kifuuse kya kibuga era nga abantu bangi beeyongedde okusengayo olwenkulakulana eyaletebwa oluguudo lwe Katosi-Nnyenga, era nga mu kiseera kino buli kitundu kitandise okufuuka ekibuga, nga kitegeeza nti buli bantu bwe baba abangi baba basobola okufuna obulwadde bwa Covid mangu ddala olw’okulinanagana okubaawo.
Agamba nti ensonga endala eyabatandisizza kawefube ono baabadde baagala n’okulabira ddala oba kituufu abantu bagoberera ebiragiro ebyateekebwawo ab’ebyobulamu n’omukulembeze we Ggwanga mu kawefube w’okulaba nga bannaNsi beewala ekirwadde kino.
“Wabula ekitwewunyisizza ennyo kwe kuzuula nga abantu baffe babadde beesuliddeyo gwa nnaggamba ku nsonga eno kubanga mu bumu ku bubuga obutotono bwe tutambuddemu tukirabye nga nabamu ku bakola ku byokulya nga abasiika Chapati tebataddewo mazzi ga kunaaba mu ngalo n’okuteekawo ebbanga eggere eri abo ababa bazze okubagulako eby’okulya.
Wabula ate nga mu kabuga ke Katosi ne ku mwalo abantu bagezezzaako okutekawo ebidomola ebitekebwamu amazzi g’okunaaba mu ngalo era nga n’amadduuka agatunda eby’okulya bannanyinigo bataddewo obuguwa okuziyiza abantu okusenbera.
Kyokka ekyewunyisa abantu baffe mu byalo bbo embeera balinga abatagimanyi era nga zi Boda Boda ziweeka abantu abasoba ne mu 2 kubanga ab’ebyokwerinda tebatuukayo, kati bano tugguddewo enkola y’okubayimiriza ne tubasomesa ebikwata ku kirwadde kya covid” Kabuye bwe yanyonyodde.
Yagambye nti kati nabamu ku bakulembeze be byalo batandise okubayita basomese abantu baabwe ebikwata ku kirwadde saako n’okubayigiriza engeri gye bayinza okukyerindamu nga bagoberera emitendera okuli Okwewa amabanga, obutekwata kwata ku bitundu bya mubiri nga tebanaabye mu ngalo, okwewala ebifo ebikunganirwamu abantu abangi, okusigala awaka mu kiseera kino n’okuwuliriza obubaka obukwata ku kirwadde kino buli kadde.
Wabula Kabuye agamba nti basanze okusoomozebewa olwabamu ku batuuze ensonga eno okugitwala nti yabyabufuzi, kyagamba nti bafuba okulaba nga babanyonyola okusobola okubakomyawo emitima okukakasa nti ya by’abulamu era ebakwatako.
Ensonga yamafuta agatekebwa mu mmotoka ezitambuza abasomesa agamba nti olumu etuuka ne bazitowerera, kubanga bakozesa amafuta agakunukkiriza mu mitwalo gye nsimbi za Uganda 700’000/= buli ssabiiti kyagamba nti kino kibanyigiriza olw’okuba Gavumenti tennaba kubayambako.
Ekitongole kino era kye kimu ku by’alondebwa akakiiko ka Covid 19 aka Disitulikiti ye Mukono okulwanyisa obulwadde buno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com