OMUBAKA mu Palimenti ya East Africa era nga ye mumyuka wa Ssenkaggale we kibiina kya Democratic Party mu Ggwanga Denis Fred Mukasa Mbidde avuddeyo nasalawo okuddukirira abantu abawangalira mu kibuga kye Masaka ne mmere basobole okuyita mu mbeera gye balimu mu kiseera kino nga e Ggwanga lyonna liri ku bwerinde bwe kirwadde kya COVID.
Mbidde mu mbeera eno yawaddeyo loole ye nkota za matooke eziwerera ddala 400 saako ne ttani za kawunga 2 ze kilo 2000 ebibalirirwamu obukadde bwe nsimbi za Uganda 6, era nga byonna yabikwasizza Omubaka wa Gavumenti e Masaka Herman Sentongo nga emu ku nkola eyatekebwawo omukulembeze we Ggwanga elina okugobererwa abantu bonna abaagala okuyamba ku bantu baabwe ne mmere.
Mbidde agamba nti ekimukozesezza kino kwe kulaba nga abantu mu kibuga Masaka naddala abo abaali bakola emirimu gya mmere ya leero mu kiseera kino nga gyonna gyasanyalala tebalina kyakulya, nagamba nti asazeewo atoole ku katono kaalina asobole okuyambako okutuusa nga ennaku 21 ez’alangirirwa ziwedde.
Abatuuze mu kibuga masaka ababadde okumpi bonna baabugaanye essanyu okulaba ku kye baagambye nti babadde tebakirabangako, omuntu ow’omutima omulungi okubaddukirira.
Ye Omubaka wa Gavumenti e Masaka Herman Sentongo yasiimye mbidde olw’omutima ogulumirirwa bannaMasaka, naga,mba nti offiisi ye weeri okwaniriza buli muntu anavaayo okuwaayo obuyambi eri bannaMasaka nasuubiza okugaba emmere eno n’obwenkanya.
Mbidde yoomu ku beegwanyiza entebbe y’obubaka mu Palimenti okukikiirira ekibuga Masaka ekifo mu kiseera kino ekirimu Hon. Mathias Mpuuga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com