ABA Minisitule ye by’obulamu bagamba nti baagala bawebwe obudde obulala bwa nnaku 21 ze ssabiiti 3 nga bakyetegereza wamu n’okulondolera ddala ekilwadde kya Corona Virus, oluvanyuma balyoke balabe butya bwe bayinza okukituula ku nfeete mu Ggwanga lyonna.
Bano bagamba nti mu nnaku ezo 21 zijja kubamala okuzza embera mu nteeko naddala nga balondoola ababadde abalwaddde be kirwadde kino.
Dr. Atek Kagirita nga yoomu ku baweebwa eddimu mu kitongole kye by’obulamu okulwanyisa ekirwadde kya Covid 19 yategezezza nti bakyagenda mu maaso n’okukebera abateberezebwa okuba ne kirwadde kino yadde nga abamu ku balwadde bagenze bassuuka era nga baasubira okwongera okusiibula abawonye abalala 15, okuva ku 4 abasiibulwa gye buvuddeko.
Agamba nti mu nnaku endala 21 ze baagala okuwebwa nga abantu bakyakuumibwa mu kalantiini zijja kubamala okulaba nga abalwadde bonna bakolebwako saako n’okukebera abantu abalala abateberezebwa okuba n’obubonero bwe kirwadde kya covid.
“Twebaza Katonda nti abalwadde baffe bonna bagenze bassuuka era tusuubira nti mu bbanga ssi lya wala tujja kuba tubasiibula baddeyo mu maka gaabwe, era tusaba abantu baabwe baleme okubasosola kubanga bawonedde ddala era tebayinza kusiiga muntu yenna bulwadde nga abasinga bwe babadde bagamba” Dr . Kagirita bwe yagambye.
Nga 30 omwezi oguwedde Pulezidenti Museveni yateekawo kalantiini wa nnaku 14 okwetoloola e Ggwanga lyonna eziggwako olwaleero olw’okubiri ekiro, mu kawefube w’okuziyiza okusasaana kwe kirwadde kya covid.
Pulezidenti asuubirwa okwogerako eri e Ggwanga ku lw’okubiri olw’aleero ku mbeera nga bweri oluvanyuma lwe nnaku 14 okuggwako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com