ABANENE mu Offiisi ya Ssabaminisita amaaso ga bamyuse bwe bakwatiddwa mu misango egyekuusa ku kwongeza emiwendo gye mmere gye babadde balina okugula ewebwe abantu abatalina kyakulya oluvanyuma lwe kirwadde kya COVID 19 okuzinda ensi nga ne Uganda mwogitwalidde.
Kino kiddiridde ebibadde biyitingana nga abakulu mu offiisi eno bwe befunyiridde okwogereza abantu abalina okuguza Gavumenti emmere omuli obuwunga bwa Kasooli saako ne bijanjaalo babeeko ensimbi ze bongeramu ne kigendererwa eky’okufiiriza Gavumenti omusimbi omungi.
Nga Kino kye kyatabudde omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni oluvanyuma lw’okufuna ku lugambo luno amangu ago naalagira akakiiko ke yateekawo okulwamnyisa obukenuzi akakulemberwa mu nnamaggye Lt. col. Edith Nakalema okukola okunoonyereza nga bwakisanga nga kituuufu abakwate mangu.
Nakalema amangu ago yasindise basajja be okuzuula ekyabadde kigenda mu maaso, era baagenze okukkakkana nga ddala kituufu waliwo ekkobaane ly’okunyaga ensimbi za Gavumenti nga bayita mu kugula emmere, era nalagira bakwatibwe.
Abakwatiddwa kuliko omuwandiisi owe nkalakkalira mu offiisi ya Sabaminisita Christine Guwatudde Kintu, Pmubalirizi omukulu mu offiisi eno Joel Wanjala, Omumyuka wa komisona avunanyizibwa ku kugula ebintu mu Offiisi enoFred Lutimba n’omukulu avunanyizibwa ku bibamba ne bigwa bitalaze mu offiisi eno Marti Owor.
Bano mu kiseera kino bali mu kukunyizibwa bambega ba Poliisi okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa akakiiko akatekebwawo Pulezidenti okulwanyisa obukenuzi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com