PULEZIDENTI Yoweri kaguta Museveni avuddeyo ne yeetondera abasawo ababadde beemulugunya olw’okutulugunyizibwa abasilikale ba LDU bwe babasanga nga bava okukola nga obudde bwa kafiyu butuuse.
Kino kiddiridde abasawo mu Ggwanga okuvaayo ne bawera n’obutaddamu kugenda kukola nga bagamba nti abaselikale ba LDU tebabawuliriza ne bwe benyonyolako mu biseera bye kiro nga bava okukola.
Kino kyaviiriddeko n’omu ku basawo mu kitundu kye Mbale okulaga ebikuyiro ebyamutusiiddwako abasilikale ba LDU bwe yabadde ava okukola mu ddwaliro ekkulu e Mbale.
“Bnange abasawo bange mbetondera olw’ebyo byonna ebitagenze bulungi, era ndagidde be kikwatako okulaba nga ekyo kikyuka amangu ddala” Museveni bwe yagambye bwe yabadde ayogerako eri e Ggwanga ku mbeera nga bweri oluvanyuma lwe kirwaddde kya Covid 19 okuzinda ensi.
Yagambye nti kino kyava ku kuba nti abasawo tebawebwa zi sitiika, nagamba nti olw’okuba ekirwadde kyazinda e Ggwanga nga tewali yetegese ebintu ebimu tebyalowozebwako mangu.
Yagambye nti teyetaaga kuddamu kuwulira nti eliyo owa LDU atulugunya muntu yenna, era nalagira nabakulira abasawo okuwa abasawo buli ekyetaagisa okusobola okwerinda senyiga omukambwe.
Mu kusooka ekibiina ekigatta abasawo mu Ggwanga kyali kyekubira enduulu eri Pulezidenti nga kilaga obwenyamivu olwa ba RDC okubasaba ensimbi 20000 buli muntu okusobola okubawa amabaluwa agabakkiriza okutambula okugenda okukola emirimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com