AMAGGYE ge Ggwanga galayidde okukwata era gaggalire abantu bonna abanakwatibwa nga bagenda mu maaso n’okuvumirira oba okwogerera obubi kawefube w’okugabira abantu emmere agenda mu maaso okuva mu offiisi ya Ssabaminisita.
Bwabadde ayogerera mu lukungaana lwa bannamawulire ku mande Omwogezi wa maggye Brig. Richard Karemire nti waliwo akabinja ka bantu abagufudde omuze okuvuma entekateeka eno nga bakozesa emikutu emigatta bantu bayogeddeko nti ekigendererwa kyabwe kikyabalemye okutegeera.
Agambye nti abantu bonna abalina okufuna emmere baawandiikiddwa abakulembeze be bitundu mwe babeera, nti era kimwewunyisa baayise abataagaliza okugamba nti emmere elimu obutwa.
“Banange tewali nsonga yonna etuwesaayo mmere elimu butwa eri abantu baffe, kale abo abakozesa socila media okuvumirira entekateeaka eno be bamu ku balabe be Ggwanga lino era tebagenda kutujja ku mulamwa gwa kuyamba bantu baffe nga tubawa eky’okulya nga omukulembeze bwe yatulagira” Karemire bwe yagambye.
Ku lunaku lw’omukaaga Gavumenti yatandise okugaba emmere era nga kawefube ono aluubiriddwamu okuyamba abantu abawerera ddala akakadde kamu ne kitundu okwetoloola ekitundu kya Kampala ne miriraano wakati mu kulwanyisa ekirwadde kya CORONA VIRUS.
Okusinziira ku ntekateeka buli muntu agenda kufuna kilo z’akawunga 6, kilo 3 ez’ebijanjaalo, abakyala abayonsa n’abalina embuto baakufuna amata nga kwotadde ne sukaali kilo 2.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com