MINISITA we nsonga z’obwaPulezidenti Esther Mbayo alabudde ababaka ba Pulezidenti okwetoloola e Ggwanga lyonna abeefunyiridde okukanda abantu ensimbi okubakolera ku mabaluwa agabakkiriza okutambula mu kakyo kano, nagamba nti anakwatibwa wakuggalirwa mbagirawo.
Mbayo agamba nti bano baweebwa olukusa olw’okugaba ebbaluwa etambuza abantu nga ya lunaku lumu lwokka era nga ebbaluwa eno elina okuba ya bwerere ku abo abalina obuzibu obutalinda omuli abakyala ebembuto, abafiiriddwa nga batambuza emirambo gyabwe, abalwadde nabalala abakkirizibwa omukulembeze we Ggwanga.
“Tubadde tufuna amawulire ku kitebe kyaffe nga bwe waliwo ba RDC abagufudde omuze okukaanda abantu baffe sente ezitali mu mateeka, kati mbalabudde anakwatibwa wakuvunanibwa nga amateeka bwe galagira” Mbayo bwagambye.
Anyonyodde nti waliwo nabamu abakyeremye okutondawo akakiiko akagenda okubayambako naddala wansi ku magombolola olwo emirimu gyonna ne bagyesigaliza, nagamba nti kino nakyo kikyamu kubanga abantu batambula engendo mpanvu okutuuka ku offiisi za ba RDC bwe baba bafunye ekizibu ekitalinda songa bandibadde ensonga ezimu zikolebwako ku magombolola wansi.
Abasabye okutekawo enkola ku offiisi zaabwe ey’okwewa amabanga nga bakola ku bantu, kyagambye nti kijja kuyambako obutasasanya kawuka ka CORONA VIRUS, kubanga abantu ababa bazze okukolwako muyinza okubaamu omulwadde nasasaanya eri abantu abalala.
Mu zi Disitulikiti omutali ba RDC Mbayo agamba nti eno bagenda kusindikayo abamyuka ab’ezibalinaanye bakole kubantu ate abatalina bamyuka agambye nti bano balina eddembe okulonda ababayambako.
.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com