BANNAMAWULIRE abakolera mu kitundu kye Mukono bali mukutya oluvanyuma lwa be by’okwerinda mu kitundu kino okubagulako olutalo olutanategerekeka kwe luva, wakati nga bakola emirimu gy’okutegeeza abantu ebifa ku mbeera eliwo mu Ggwanga.
Bano bagamba nti mu bbanga lya wiiki emu yokka banaabwe 4 kati banyiga biwundu mu maka gaabwe abalala bali ku bitanda oluvanyuma okukubwa abasirikale ba LDU, Poliisi n’ amaggye.
David Musisi Kalyankolo omukozi wa Bukedde TV mu kiseera kino ali mu mbeera mbi mu ddwaliro erya Herona Hospital e Kisoga mu Gombolala ye Ntenjeru oluvanyuma lw’okukubwa emiggo emiyitirivu akulira poliisi post ye Buziranjovu Noah Mukosi eyabadde yeegattiddwako abasilikale ba LDU ne bamulekako kikuba Mukono, bwe yabadde akola emirimu gye.
Hadijah Namutebi mukyala wa Kalyankolo agamba nti omwami we yakubiddwa byansusso abasilikale abamusanze nga anatera n’okutuuka mu maka gaabwe agasangibwa e Namaiba mu Gombolola ye Nakisunga,
Ono yakubiddwa ku mutwe navaamu omusaayi omuyitirivu era olw’embeera y’okubulwa entambula abazira kisa bakumbidde ambulensi ye ddwaliro lya Herona eyamukimye yenna nga takyategeera.
Mu kiseera kino omukyala ono agamba nti embeera emusombedde kuba bba yabadde anoonya ekyokulya n’okulabirira abaana nga ne ssente ze ddwaliro tebamanyi we bagenda kuziggya.
Dr Moses Kaeeya ga yakulira eddwaliro lino agamba nti Kalyankolo yaleteddwa nga ali mu mbeera mbi naye abasawo baakoze ekisoboka okulaba nga adda engulu.
Bino we bigidde nga ne bannamawulire abalala 3 okuli Dalton Matovu Yiga owa Radio Simba ku lunnaku lw’okusatu ku ssawa emu ez’akawugeenzi bweyali awereza butereevu amawulire ku Leediyo Simba ku luguudo lwe Jinja mu kibuga Mukono embeera nga bwe yali, ekibinja kya ba LDU ne kimuyiikira ne bamukuba emiggo saako n’okumutwalako ebibye byonna omwali ne nsimbi enkalu.
Ono yadde yagezaako okubeeyanjulira n’okubalaga ebiwandiiko ebimulaga nti munnamawulire bano teabafaayo baagenda mu maaso nakumukuba saako n’okumunyagako ebibye.
Ono embeera ye nayo yeteyagaza nga mu kiseera kino ali mu makaage agasangibwa ku kyalo Ssaza anyiga biwundu.
Ye Daniel Mwesigwa owa NTV e Mukono, naye anyiga biwundu oluvanyuma lw’omupoliisi akola ku ofiisi ya RDC Fred Bamwine okumukakanako n’amuligita emigoba nte okukakana ng’omukono gwonna kufunye ebisago.
Mwesigwa yabadde agenze ku ofiisi eno ne bannamawulire abalala okufuna ekimpapula ekibakkiriza okukola nga bakozesa emmotoka nga eno naye gye baaamukubidde.
Mungeri yeemu ne Henry Nsubuga ng’akolera Bukedde TV n’olupapula naye yatulugunyiziddwa adduumira poliisi ye Mukono SP Joab Wabwire ku ofiisi ya RDC Fred Bamwine natuuka n’okumusaguzamu ebifanannyi bye yabadde akutte.
Mu kiseera kino DPC ne RDC abakulira eby’okwerinda tebasobose kufunika olwa masimu gaabwe agamanyiddwa okuba nga tegakwatibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com