ENTEKATEEKA z’okuziika eyali Omwami wa Kabaka owe Ssaza lye Kyaggwe Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo ziwedde okufulumizibwa.
Owekitiibwa Kigongo yafa ku lw’okubiri mu ttuntu bwe yali atambula tambulako ku kyalo Nasuuti okumpi n’amakaage nga wano ekirwadde we kyamugwirira naagwa wansi okumuyoolayola okumutwala mu ddwaliro nga amaze okussa ogw’enkomerero.
Okuva olwo abakola ku by’okuziika baaali omulambo gwe baagutwala okuguteekateeka, era olunaku lwe ggulo akawungeezi gw’akomezeddwawo mu makaage agasangibwa ku kyalo Nakabago e Mukono mu kimpowooze abantu be basobole okumukubako eriiso evvanyuma.
Wabaddewo n’okusaba okwetabiddwako abantu abatono ddala, okwakulembeddwa omulabirizi wa Central Buganda eyawummula Bishop Jackson Matovu wamu n’abasumba ba Lutikko y’omutukuvu Phillipo ne Andereya.
Omu ku bavunanyizibwa ku ntekateeka y’okuziika Ssozi Sewannonda yategezezza nti omugenzi agenda kugalamizibwa ku biggya bya bajjajjaabe ebisangibwa ku kyalo Neekoyedde mu Gombolola ye Kimenyedde e Nakifuma ku ssawa munaana ez’olweggulo.
Yanyonyodde nti ab’obuyinza baabakkirizza abantu 30 bokka okwetaba mu kuziika kuno, nga oluvanyuma nga embeera ye kirwadde kya CORONA virus eteredde bajja kukola entekateeka y’okukungubaga mu butongole, okumusabira saako n’okujjukira emirimu gyakoledde e Ggwanga n’obwaKabaka bwe.
Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asuubirwa okuba omukungubazi omukulu, saako ne Ssabalabirizi omuggya Rt. Rev. Dr. Steven Kazimba Mugalu yaasuubirwa okukulembera okusabira omugenzi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com