ABATUUZE mu Ssaza lye Kyaggwe baguddemu ensisi oluvanyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omwami wa Kabaka ow’eSsaza lye Kyaggwe eyawummula Sekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo.
Amawulire gano abatuuze bagafunye ku ssaawa nga Musanvu ezemisana, nga kigambibwa nti abadde agenze okulambula ku kifo kye ekisanyukirwamu ekimanyiddwanga Royal Terven ekisangibwa ku kyalo Nasuuti nga eno ekirwadde gye kimugwiridde naagwa wansi abaddukirize kwe kumuyolayoola ne bamuddusa mu Ddwaliro ly’obukulisitaayo e Mukono gyafiiridde.
Kitegerekese nti Owekitiibwa Kigongo aludde nga ekilwadde kya pressure kimusumbuwa nga kiteberezebwa okuba nti kye kivuddeko akabasa.
Mu kiseera kino ekibuga Mukono kyonna kiri mu kiyongobero olw’okuba Kigongo abadde musuubuzi wa maanyi nnyo mu Mukono ne Kampala nga ye nanyini madduka agatunda ebyamasanyalaze agamanyiddwanga Kikonyogo And Sons Electrical Centre.
Ono yalondebwa ku bwa sekiboobo bwe Ssaza lye Kyaggwe mu mwaka 2010 naawummula okukola emirimu gy’obwaKabaka mu mwaka gwa 2019.
Yakola emirimu mingi mu kiseera we yabeerera mu kifo kino, omwali okusitula eby’obulimi, eby’enjigiriza ne bilala.
Mu kiseera kino omulambo gwe gukyali mu ddwaliro lya Mukono Health Centre elimanyiddwa nga Namirembe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com