MUNNAMAGGYE Major. Gen. Wasswa Kasirye Ggwanga yavudde mu mbeera nasalawo okuggalawo ekibuga Mityana kyonna nga agamba nti abantu abawangaliira mu kibuga kino basusizza emputtu, gyagamba nti eggya kuvaako bonna okukunkumuka olw’ekirwadde kya COVID 19.
Olunaku lw’omukaaga ku makya Gen. Ggwanga yasoose kusindika basilikale abamukuuma saako ne Poliisi mu kitundu kino ne bagenda mu maaso n’okulabula abatuuze okuggalawo amadduuka gaabwe ekiragiro abasuubuzi kye baaziimudde.
Bwabadde tebuli busa nga ye kennyini ne basajja be bagobye okusobola okutuukiriza ekiragiro yye kye yayise eky’omukulembeze we Ggwanga kye yayisa gye buvuddeko okuziyiza ekirwadde kya CORONA nga atangira abantu okwewala okukungaana.
Wabula basajja be olwabadde okutuuka mu Kibuga baatandikiddewo okukuba abasuubuzi naddala ab’emmere emiggo nga babakaka okuggalawo amadduuka gaabwe era gye byaggweredde nga abasinga kubo banyiga biwundu.
Kino kyanyizizza abantu be Mityana ne balangira Ggwanga okuba nti yavudde ku biragiro bya Pulezidenti, omwali okuleka abatunda emmere okuggulawo ebifo mwe bakolera
Wabula Gen. Ggwanga bwatuukiriddwa ku lukomo lwe ssimu ategezezza omukutu gwa WATCHDOG nti tayinza kudda mu makaage natunula nga abatuuze mu kibuga naye gyawangaalira boolekedde ekiseera ekizibu olw’emputtu gyagamba nti abatuuze beeno ebajjudde mu mitwe.
Agambye nti tekirina kye kikola muntu kubeerako waka n’abantu be, naalema kuwambagatanya bilwadde kuva mu bantu bangi ate nabitwalira ebeeka, nagamba nti tajja kukkiriza bantu kuggwawo nga atunula.
Eky’okukuba abantu emiggo akyegaanyi nagamba nti mu bilagiro bye yawadde basajja be temwabaddemu kukuba bantu, nagamba nti agenda kulondoola ensonga eno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com