MU kawefube abakulira eby’obulamu mu munisipaali ya Mukono gwe baatandikawo gye buvuddeko okusobola okusomesa abantu okwerinda ekirwadde kya COVID 19, Abaselikale ba LDU nabo batandise okumuganyulwamu.
Bano basomeseddwa ebikwata ku kilwadde kino, era nebabuulirwa kalonda yenna ayitibwamu okusobola okukyewala nga bakola emirimu gyabwe.
Dr. Anthony Kkonde akulira eby’obulamu mu kibuga kye Mukono agamba nti abaselikale babadde balekeddwa ebbali kyokka nga buli kadde babeera mu bantu okusobola okutuukiriza ekiragiro kya Pulezidenti kye yawa gye buvuddeko okuyimiriza ku gimu ku mirimu egibadde gikungaanya abantu abangi, okusobola okuziyiza okusasaana kwa kawuka ka CORONA.
Kkonde yagambye nti bano baabasomesezza butya bwe bayinza okwewala okukwatibwa ekirwadde kino naddala nga babadde bayitiddwa okulaba abalwadde mu byalo abateberezebwa okuba n’ekirwadde.
Baawereddwa ebikozesebwa mu kwerinda ekirwadde omuli eddagala elitta obuwuka elimanyiddwanga (Sanitizers) nga kwotadde enkampa ezeyambisibwa mu kukuuma engalo nga nnyonjo.
Yabakubirizza bulijjo okuloopera abasawo abantu abateberezebwa okuba ne CORONA akimibwe abakugu sso ssi bbo kumala gamukwatako kye yagambye nti kyabulabe gyebali olw’obutaba na bukugu mu byabulamu.
Aba LDU nabo baasuubizza okwongera okukolaganira wamu na basawo mu kitundu kye Mukono, okusobola okutuula ku nfeete ekirwadde kya CORONA ekikankanyizza ensi yonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com