YOSEPH Tamale Mirundi eyali omwogezi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museven alabudde nti ssinga Pulezidenti tavaayo natondawo emikutu gya mawulire egigye kigenda kumubeerera kizibu okumatiza bannaUganda ne Nsi yonna nti aliko ebintu by’omuzinzi byakoledde eggwanga.
Tamale agamba nti emikutu gy’amawulire egiriwo kati omuli empapula z’amawulire, Zi Leediyo, emitimbagano ne zi Ttivvi, ye Pulezidenti gyayita egya Gavumenti gyava dda ku mulamwa ogw’okwogerera enkulakulana eleteddwa Gavumenti ya NRM, nagamba nti gino kati giddukanyizibwa bantu be yayise abayeekera Gavumenti ate nga bali mu yyo munda bagiryamu.
“Abamafiya balidde buli kintu mu Gavumenti eno era bagagga nnyo, naye ate era be beefunyiridde okugisuula nga bakozesa emikutu gyamawulire egya Gavumenti gye nnyini, muno bakozesa abakungaanya ab’okuntikko abaamawulire abatali bamu ne bakuba emitwe egikanga saako n’okulaga nti Gavumenti ya NRM terina kyekoze, mu kifo ky’okulaga ebikoleddwa.
Banange Museveni nga atadde sente nnyingi mu kutambuza amasanyalaze, eby’obulimi, Enguudo, amazzi amayonjo n’ebilala naye ddi lwe mwali mulabyeko nga emikutu gino givaayo buterevu okuwaagira entekateeka ya Pulezidenti n’ebikoleddwa? wabula gilabikako nnyo nga gikuba saako n’okwogerera obubi entekateeka zino naddala nga zifunyemu obuzibu mu kifo ky’okulaga abantu ekituufu” Tamale bwe yagambye.
Okw’ogera bino yabadde ku Pulogulaamu ya One On One with Tamale Mirundi ku ttivvi ya NBS ku lw’okubiri.
Yawabudde nti Pulezidenti Museveni yeetaaga okufuna abantu ababe abalina embavu saako n’obumanyirivu okwogerera ebintu byakoledde Eggwanga lino sso ssi kwesiga be yayise abamafiya abalina ebigendererwa ebyabwe.
“Kinewunyisa okulaba nga Abamafiya baweebwa omusimbi mungi okuddukanya emikutu gy’amawulire, kyokka nga ffe abamanyi era balina obwagazi okukolera Gavumenti tewali atuwa yadde ennusu.
Tunakomawa okwogerera Gavumenti nga teri yadde ekikumi kye mutuwa, nga ne nsimbi ezanditusasuddwa tukole emirimu mubba nzibe, naffe tugenda kubaleka tudde eka tuzinge emikono tubaleke ekintu mukifiiremu mwekka nga bwe mukiryamu.
Neewunya buli ayogerera Gavumenti obulungi aba ali bubi nnyo nga akuba ne mpale ebilaka kyokka abagibbamu obubbi era nga tebagyagala bavuga amammotoka amanene era bali bulungi nnyo” Tamale bwe yayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com