NGA omu ku kawefube w’okulwanyisa ekilwadde kya COVID 19 ekyalumba ensi gye buvuddeko abamu ku ba Nnakibiina kya Democratic Party mu Munisipaari ye Mukono batandise kawefube agendereddwamu okutumbula obuyonjo mu kitundu kyabwe.
Bano bagenda kutandikira mu Division ye Goma oluvanyuma beeyongereyo mu ye Mukono, nga basomesa abantu ebikwatagana ku buyonjo, okubawa ebikozesebwa mu kunaaba engalo omuli ne ddagala elitta obuwuka obuva ku bukyafu, saako n’okubanyonyola ku bikwata ku kirwadde namutta ekya COVID19.
Zirimala Festo Kiggundu nga ye yawomye omutwe mu kawefube ono agamba nti wakati mu kuwuliriza ennyo ebikwata ku kirwadde ekitabudde Ensi, akizudde nti ensonga zonna tezeetaaga kulekera mukulembeze wa Ggwanga oba abasawo, wabula nabantu ba bulijjo balina okuvaayo bukuukubira okulaba nga beekuuma ekirwadde kino kubanga bwe kinatuuka mu Ggwanga Uganda ebintu bijja kuba byononese.
Ono eyasangiddwa mu makaage agasangibwa mu Ntinda Zone e Seeta yategezezza nti amaze okufuna ekibinja ky’abantu abawerera ddala 50 nga bano bagenda kutalaaga ekitundu kye kibuga Mukono kyonna nga basomesa abantu butya bwe bayinza okwekuuma ekirwadde kino saako n’okubawa ebikozesebwa mu kunaaba engalo basobole okuba abayonjo buli kadde.
“Nze nga omu ku baluubirira okukulembera ekitundu kino siyinza kutunula butunuzi nga bantu bange boolekedde okukwatibwa ekirwadde kya COVID, olw’okuba njagala babe balamu nasaze amagezi okufuna ebikozesebwa byonna omuli eddagala, amazzi n’ebidomola eby’omulembe ebigenda okukozesebwa mu kunaaba engalo, era ne ntekawo ne pikipiki Bajaj abantu bange kwe bagenda okutambulira nga babunyisa kawefube ono.
Tukubiriza bakulembeze bannaffe abali mu buyinza nabo okuvaayo okuyamba ku bantu ababalonda ne babateeka mu bifo mwe bali, kubanga beetaga okubeera abalamu basobole okuddamu okubalonda nti kubanga ye asobodde okufunayo obukadde 5 bwatadde mu kutaasa bannaMukono” Zirimala bwe yagambye.
Yanyonyodde nti kawefube ono agenda kumala ennaku 32 okusinziira ku biragiro ebyawebwa omukulembeze we Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com