ABAYIZI be Ttendekero ekkulu e Makerere balagiddwa okudda eka mu bwangu oluvanyuma lwe kiragiro ky’omukulembeze we Ggwanga kye yayisizza okugalawo amassomero gonna okumala ennaku 32.
Akulira e Ttendekero lino Prof. Barnabas Nawangwe agambye nti olunaku lw’okutaano tewali muyizi yenna gwe baagala kulabako nga asalimbira ku ttaka lye Ttendekero, era nagamba nti kino kigenda kutekebwa mu nkola abakozi be Ttendekero bonna.
Nga asinziira ku mukutu gwe ogwa Twitter Nawangwe agambye nti bwe zinawerera essawa mukaaga nga abayizi bonna bamaze okudda mu maka ga bakadde baabwe nasaba abazadde nabo okulondoola enkola eno okusobola okuziyiza abayizi obutakwatibwa yadde okusasaanya akawuka akaleeta ekirwadde kya Covid 19.
Ono asabye abayizi nabalkozi ba Yunivasite okubeera abakakkamu ku nsonga eno, era nalagira abayizi abasula mu bisulo bye Ttendekero okubyamuka amangu ddala.
Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yabadde ayogerako eri e Ggwanga eggulo yagambye nti Gavumenti gyakulembera efubye okutumbula eby’enjigiriza mu Ggwanga, nti era abayizi abali mu massomero bawerera ddala obukadde 15, bwe yagambye nti bungi nnyo nga singa baba buli lunaku bakungaana baba basobolera ddala okusasaanya akawuka akaleeta ekirwadde kya COVID19, era nalagira amassomero saako n’amatendekero agawaggulu okugira nga gagaggalawo okusobozesa okutangira ekirwadde kino.
Mu kiseera kino Uganda ebadde tenaba kufuna bubonero bwa kirwadde kya COVID 19.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com