MUNNAMAGGYE Lt. Gen. Henry Tumukunde eyakwatibwa gye buvuddeko ebintu by’ongedde okumwononekera bwaguddemu ekirwadde mu kkomera gyabadde naddusibwa mu ddwaliro e Nakasero nga biwala ttaka.
Tumukunde alabise nga mukoowu nnyo era nga amaanyi matono, kigambibwa nti yasoose kuzimba kugulu okugambibwa okubanti kwavudde ku kumuyimiriza ekiseera ekiwanvu ennyo ab’ebyokwerinda bwe baabadde bakola omulimu gw’okwaza amakaage agasangibwa e Kololo ku lw’omukaaga.
Okugulu okugambibwa okuvaako akabasa kumaze ekiseera nga kumulumaluma kubanga kwakuubawamu essasi mu kiuseera bwe yali ne banne mu nsiko nga baluubirira okununula eggwanga, era kigambibwa nti mu kiseera ekyo yakukusibwa natwalibwa mu Ddwaliro e Nairobi gye baamujjanjabira nasuuka.
Ono yakwatibwa ku lunaku lw’okuna ekiro okuva mu makaage e Kololo, era naggulwako omusango gw’okulya mu Nsi olukwe bwe yasinziira ku mikutu gya mawulire nakowoola elimu ku Ggwanga ly’okumulirwano liveeyo liyambeko mu kumaamulako Gavumenti ya NRM eri mu buyinza
Okuva olwo abadde akuumibwa mu kadukulu k’ekitongole kya Poliisi ekyenjawulo ekikola ku kunonyereza ku misango e Kireka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com