MUNNAMAGGYE Gen. Henry Tumukunde olwaleero asuze mu kaduukulu ku kitebe kya bambega ba Poliisi SIU e Kireka, oluvanyuma lw’okukwatibwa bwabadde adda mu makaage agasangibwa e Kololo mu Kibuga Kampala.
Ono akitegeddeko nti amaggye ne Poliisi basazeeko amakaage ne Offiisi ye, kyokka kino tekimulobedde kugenda mu maaso kulaba bwe gubadde era asanze akulira bambega ba Poliisi Grace Akullo saako n’akulira ekitongole ekikessi e Kireka Elly Womanya baamulinze dda nga balina ebiwandiiko bi bakuntumye okuva mu kkooti saako ne bibalagira okwaza enyuma ya Gen. Tumukunde.
Kitegerekese nti bano bamulagidde obutabaako kyayogera kyonna ne bamuteeka mu mmotoka natwalibwa ku Poliisi.
Ensonda ziraze nti Tumukunde alabika ekimu ku bimukwasizza kwe kuba nti ennaku zino okuva lwe yalangirira nti agenda kuvuganya ku bwa Pulezidenti abadde ayogera ebigambo eby’obusagwa eri Gavumenti ya NRM ne Pulezidenti Museveni.
Ono era awandiise ku mukutu gwe ogwa Face Book nti “Nkwatiddwa naye bawagizi bange temugwamu maanyi”
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com