MINISITA wa Gavumenti ze bitundu Raphael Magyezi avuddemu omwansi naalaga ezimu ku nsonga ezigaana Gavumenti ezebitundu okutambuza obulungi emirimu, nagamba nti ezimu zivudde ku ba Kkansala abaalondebwa abantu obutafaayo kutuula mu nkiiko okusobola okusalirawo ebitundu byabwe.
Magyezi agamba nti mu kiseera ekitono kye yakamala mu Ministule ya Gavumenti ze Bitundu akizudde nti ba Kkansala okuli aba zi Munisipaari, amagombolola saako ne zi Disitulikiti beesulirayo gwanaggamba okutuula mu nkiiko ze bitundu byabwe, nga kino kitegeeza nti bwe bataba mu nkiiko zino ebitundu biba tebikiikiriddwa, kubanga waba tewali agenda kutuusaayo birowoozo bya batuuze bisobole okukolwako.
Mu mboozi eyakafubo ne Watchdog Magyezi yagambye nti batandise okusala amagezi okulaba butya bwe bagenda okukangavvulamu abakiise bano, kubanga ate era bakizudde nti beekobaana n’abakozi ba Gavumenti ne baweebwa ensako zaabwe yadde nga baba tebatudde mu nkiiko, kyagambye nti kikyamu.
“Silaba lwaki kkansala atasobodde kujja mu lukiiko olusalirawo ekitundu kye n’abantu be abamulonda ate aweebwa ensako, ensonga eno tugenda kugitunulamu nga omu ku kawefube w’okuzzaamu abakulembeze baffe abali mu Gavumenti ze bitundu amaanyi, basobole okujjumbira enkiiko kubanga ze zisalawo ku nkulakulana mu bitundu bye bakiikirira” Magyezi bwe yagambye.
Yanyonyodde nti embeera eno yabulabe nnyo kubanga eleetawoi abatuuze okunenya Gavumenti buli kadde, songa abantu be baalonda be balemereddwa okuteseza ebitundu byabwe, olw’obunafu obwabwe nga abantu.
Yalabudde abakozi ba Gavumenti abasalawo okukola ebintu ebyabwe nga abantu mu bitundu gye baasindikibwa, nagamba nti bano bakukwatibwako nga amateeka bwe galagira kubanga balina kussa mu nkola ebyo byokka ebiba biyisiddwa enkiiko za Gavumenti mu bitundu gye bakolera.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com