SSABALABIRIZI we Kkanisa ya Uganda Rt. Rev. Dr. Steven Kazimba Mugalu awadde abatuuze be Buikwe essanyu bwabakyaliddeko nga akamu ku bubonero obulaga obwetowaze mu kitundu gyazaalibwa.
Ono agenda kumala ennaku ssatu mu kitundu kya Mukono eyawamu nga alambula abakulisitaayo saako ne mikwano, kubanga eno kye kitundu gyazaalibwa era gye yatandikira obuwereza.
Asookedde ku kitebe kya Disitulikiti ye Buikwe gyayaniriziddwa Ssentebe Mathias Kigongo, nga yegattiddwako abakulembeze abalala saako n’abakozi ba Gavumenti.
Wano era ayogeddeko eri abakozi n’abakulembeze olwo ne yeyongerayo ku kyalo Madudu Gyazaalibwa alamuse ku bantu b’okukitundu nga kwotadde n’okusabirako awamu nga yebaza Katonda olwe kkula Katonda ly’amutuusizaako okufuna ekitiibwa ekisingayo obunene mu Kkanisa ya Uganda era ebuna wonna.
Asuubirwa okugenyiwalako mu makkanisa eg’enjawulo mu Mukono ne Buikwe era nga agenda kukyalirako ne Ssomero mwe yasomera elimanyiddwanga Seeta College Mwanyanjiri mu Gombolola ye Nakisunga.
Kazimba yaliko omubuulizi mu kkanisa ye Namataba, gye yava nagenda e Nakibizzi, naleetebwa ku lutikko yabatukuvu Phillipo ne Andereya e Mukono gye yali nga Diini wa Lutikko, oluvanyuma n’alondebwa okufuuka omulabirizi we Mityana.
Ajjukirwa nnyo olwe nkulakulana gye yaleka e Mukono, saako n’okubuulira enjiri obutebalira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com