WABADDEWO akasattiro ku lw’omukaaga ku kyalo Kitofaari ekisangibwa mu muluka gwe Kyantale mu Gombolola ye Kyanamukaaka, Poliisi okuva e Masaka bwe yalumbye abatuuze abaabadde bakungaanye okutongoza empaka z’omupiira ezizanyibwa buli mwaka ezimanyiddwa nga Sebamala Easter Cup.
Empaka zino zizanyibwa wakati buli mwaka nga akamu ku bubonero obw’okujaguza olunaku lw’amazuukira mu kitundu kya Bukoto Central mu Disitulikiti ye Masaka, era nga mwetabamu ttiimu 16 eza baami n’abakyala okuva mu miruka gyonna egikola ekitundu kino.
Wabula olunaku lw’omukaaga abatuuze bwe baabadde bamaze okukungaana era nga ne ttiimu ezabadde ez’okuzanya zonna nga zituuse ku kisaawe, ekyaddiridde ze Kabangali za Poliisi okuva e Masaka ezabaddeko abasilikale nga bambalidde emmundu saako ne ttiya gaasi okusalako ekisaawe ne balagira abatesiteesi okuyimiriza empaka zino bunnambiro era ne balagira ne mmotoka eyabadde elanga obutaddamu kutambula nga ekunga abantu.
Kino kyajje abatuuze mu mbeera nga beebuuza ogubadde, nti kubanga babadde bamaze ebbanga nga bateekateka omukolo gwabwe kyokka nga Poliisi telina kye banyega.
Abamu ku batuuze baalumirizza omumyuka w’omukulembeze we Ggwanga era nga ye mubaka we kitundu kino mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Edward Kiwanuka Sekandi okuba emabega w’okuyimiriza entekateeka yabwe nga bagamba nti naye yabadde alina ekikopo ky’omupiira ekisambibwa mu kitundu kye kimu.

Omutegesi we kikopo kino Eng. Richard Sebamala agamba nti kyamwewunyisizza okulaba nga Poliisi gye yawandiikira sabbiiti 3 emabega nga agitegeeza ku ntekateeka eno saako n’okugisaba obukuumi ate nga egenze e Kyanamukaaka okutabangula emikolo gy’okutongoza empaka z’amazaalibwa.
Sebamala yanyonyodde nti ekikopo kino kizanyibwa buli mwaka ne kigendererwa eky’okujaguza amazaalibwa ga Yezu Christo era nga kitekebwamu obukadde 10, omuwanguzi awebwa obukadde 6 obwe nsimbi za Uganda, kyagamba nti Poliisi n’abagikozesa balabika balina ekkobaane ly’okufiiriza abatuuze be Bukoto.
“Buli kimu eky’etaagisa twabadde tumaze okukigula omuli emijoozi, emipiira, ensimbi z’abawanguzi nazo zaabaddewo nga tugenda kuzikwasa akakiiko akategesi, kyokka byonna Poliisi yabirinyemu olw’ebigendererwa ebitanamanyika.
Ttiimu ye Bisanje eyatwala engabo omwaka ogwaggwa nayo yabadde egikomezaawo kyokka byonna tebyasobobose, nange kenyini Poliisi yantayizza ne nnemesa okwegatta ku bantu bange abaabadde banindiridde tutambuze omukolo gwaffe” Sebamala bwe yagambye.
Yanyonyodde nti agenda kwekubira enduulu eri Ssabaddumizi wa Poliisi ye Ggwanga akome ku bassajja be abatwala Poliisi ye Masaka bagambye nti basusse okukozesebwa bannabyabufuzi okutabangula entekateeka z’abatuuze mu kitundu kye Bukoto, nagamba nti agenda kusala amagezi gonna okulaba nga empaka zino zizanyibwa awatali kulemesebwa kwonna.
Kawefube w’okunoonya Omuduumizi wa Poliisi ye Masaka okubaako kyayogera ku nsonga zino agudde butaka olw’essimu ye gyatera okukozesa obutabaako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com