MINISITA avunanyizibwa ku nsonga za baana Florence Nakiwala Kiyingi akunyizza Paul Mutabaazi kitaawe w’omuyimbi omuto Patrick Senyonjo Fresh Kid, saako ne Maneja we MC Events nga entabwe eva ku nsimbi eziva mu bivvulu by’omwana ezasuubizibwa okutelekebwako asobole okuzisanga zimuyambe nga akuze.
Bano Minisita era abasuubizza okubaggalira ssinga bakomawo mu maaso ge nga mu bbanka teri nsimbi nga bwe baategeragana emyezi 6 emabega.
Kinajjukirwa nti obumu ku bukwakkulizo obwateekebwawo wakati wa bazadde ba Fresh Kid saako ne Minisita mwalimu okubaako omutemwa oguterekebwa okuva ku nsimbi ezijjibwa mu bivvulu Fresh Kid gyaba ayimbidde, nga ensimbi zino ziriko ekigendererwa eky’okumuyamba bwanaaba akuze nga atuuse okwesalirawo ku myaka 18.
Wabula oluvanyuma lwe bbanga okuyitawo Minisita Nakiwala aguddewo ekigwo, bwagenze okubuuza kitaawe Paulo Mutabaazi oba alina akasente kazze atereka nga bwe kyalaganyizibwa amatama gafuuse ntengo ekilaze teri yadde akasente akatono ke yali aterekedde mwana we, ekijje Minisita mu mbeera nayagala okuyita Poliisi emutwale.
Mutabaazi mu kwelwanako agambye nti ensimbi ezibaddewo abadde alina emirimu gyasoose okuzisaamu egivaamu ensimbi naye nga oluvanyuma ajja kuzijjamu ziterekebwe omwana asobole okuzisanga nga akuze nga bwe kyakkanyizibwako.
“Omwana nsiiba muwulira ku mikutu gya mawulire nga bamulanga mu bivvulu eby’enjawulo, mugamba mutya nti temulinaawo yadde ennusu gye mumuterekedde ku nsimbi ze, kale lwe munakomawo wano ku akawunti kulina okuba nga kuliko ensimbi wabula bwe naakizuula nga mubadde mulya ndye ngenda kubaggalira” Minisita Nakiwala bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com