KKANSALA akiikirira amambuka ga Lubaga Abubaker Kawalya olwaleero kitegerekese nti naye ayingidde mu byafaayo bye kibuga Kampala, oluvanyuma lw’okuwangula obwa Sipiika bwa KCCA mu kuvuganya okubadde okwa kassameeme.
Kawalya okuwangula kiddiridde ye kenyini okusalawo okujja nga omuntu atalina kibiina kyonna kimuwagira okujjako okwekwata ku kisinde kya People Power era afunye obululu 17, naddirirwa Doreen Nyanjura owa FDC afunye obululu 14, ate Muhammad Segiriinya naafuna akalulu 1 kokka.
Bino byonna bibaddewo ku kitebe kya KCCA mu Kampala ku lw’okuna, era nga okulonda kuno kukubiriziddwa omulamuzi Lilian Okello ow’okukkooti ya Buganda Road.
Okulonda Sipiika kiddiridde olukiiko lwe ggwanga olukulu okukola enongosereza mu tteeka elifuga ekibuga Kampala ne lusalawo ba kkansala be baba beelondamu omuntu anaakubirizanga olukiiko lwe Kibuga era nga kati Kawalya yagenda okusookera ddala okulukubiriza.
Kino kikubye wala Omuloodi Erias Lukwago saako ne munywanyi we Dr Kiiza Besigye kubanga babadde mu lwatu bawagira Doreena Nyanjura awanguddwa.
Kigambibwa nti Kawalya mu kulonda kwa 2021 alina entekateeka y’okuvuganya ku kifo ky’obubaka bwa Palimenti obwa Lubaga North ekifo ekilimu Moses Kasibante.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com