EYALI omubaka wa Palimenti akiikirira ekitundu kye Buikwe South Dr. Micheal Bayiga Lulume avuddeyo okuvuganya ku kifo kya Ssenkaggale we kibiina ekisinga obukadde mu Ggwanga ekya Democratic Party DP.
Lulume nga ne ku mulundi oguwedde yavuganya ku kifo kino nawangulwa omukulembeze aliko kati Norbert Mao agamba nti ayagala kukomyawo kitiibwa kya kibiina kya DP kyagamba nti kyasereba dda.
Ayongerako nti ennaku zino obukulembeze obuliwo mu kibiina tebussa mu nkola ya mateeka kitiibwa, songa ekibiina kyazimbibwa abakitandikawo ku musingi gwamazima n’obwenkanya.
Ono era olunaku lw’okuna ayise olukiiko lwa bannamawulire ku Cardinal Nsubuga Leadership Training Centre anyonyole e Ggwanga ku ntekateeka gyagenda okukozesa okuwangula obukulembeze bwe kibiina.
Ensangi zino ekibiina kya DP kiri mu kattu, era nga n’omulundi ogusembyeyo okutuuza olukiiko lwe kibiina olw’okuntikko lwaggwera mu bawagizi kukuba bakulembeze nga babalanga okubeera bannakyemalira, saako n’okukola ku nsonga ze kibiina nga tebagoberera mateeka.
Mu lukiiko olwo era abakulembeze ba DP mwe baasinziira okugoba Ssabateesiteesi we kibiina Sulaiman Kidandala ekintu ekimu ku bigambibwa nti bye bisinze okutabula ekibiina.
Mao obukulembeze yakabumalako emyaka 10, okuva bwe yalondebwa mu Ttaba Miruka we kibiina eyatuula e Mbale mu mwaka gwa 2010.
Dr. Lulume Musawo omutendeke era nga yaliko omubaka mu Palimenti owe Buikwe okumala emyaka 8.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com