ABAVUBUKA 2 abakola ogw’okuvuba ku mwalo gwe Bussi balajanidde be kikwatako okubayamba oluvanyuma lw’okugwa mu bagambibwa okuba abayambako ku maggye agakola ogw’okulwanyisa envuba embi ne babakuba emiggo saako n’okutemako omu omukono.
Tonny Mawejje ne Kamada Mutebi baasangiddwa ku kkooti Entebbe nga ge bakaaba ge bakomba era nga beebuza ludda wa gye bayinza okuggya obwenkanya olw’engeri gye balaba omusango gwabwe gye gutambuzibwamu ekibaletedde okutya olw’okuba abagambibewa okubatuusako ebisago bateebwa dda.
Bano banyonyodde nti nga 09 omwezi gwe 12 omwaka oguwedde bwe baali bava mu nnyanja okuvuba baagwa mu kibinja kya bantu abaali babagalidde amajambiya ne miggo era nga oluvanyuma babategeera nga be bamu ku bantu abalondebwa okuyambako amaggye okulwanyisa envuba embi mu kitundu kyabwe.
Ku bano kwaliko Kirongoozi Joseph, omulala amanyiddwa nga Wilber, Patrick, Lwejonga nabalala be batasobola kulaba olw’obudde okuba nti bwali bwa kiro, bagenda mu maaso ne bababuuza ludda wa gye baali bava era ne babategeeza nga bwe baali bava mu nnyanja okuvuba, baabateeka ku nninga boogere wa gye batadde ebyennyanja ebito ne babategeeza nga bwe batabilina, kwe kutandika okubakuba saako n’okubatematema okukkakana nga Kamada bamutemyeko omukono.
Oluvanyuma abaddukirize bajja ne bategeeza Poliis ye bussi eyakwata abagambibwa okubatema kyokka ne bateebwa nga batuusiddwa ku Poliisi ye Entebbe.
Balajanidde abakulu mu maggye okuvaayo okubayamba nti kubanga bejjanjabye naye ensimbi zibaweddeko.
Era basabye abalamuzi mu kkooti Entebbe okubayamba okusobola okufuna obwenkanya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com