EGGYE lye Ggwanga UPDF lisambazze ebibadde biyitingana ku gimu ku mikutu gya mawulire nti omujaasi waabwe era nga yaduumira eggye ly’okuttaka Lt. Gen Peter Elwelu nti ali mu mbeera mbi olw’obulwadde obwamutabudde omutwe.
Ku nkomerero ya wiiki ewedde waliwo omukutu gwa mawulire ogumanyiddwanga Capital Times ogwavuddeyo ne mboozi nga egamba nti munnamaggye Elwelu yabadde aliko ekilwadde ekyamugwira ne kimukuba ku ttaka era naatabuka n’omutwe, nga mbu yabadde aliko obujjanjabi okuva mu bakugu mu byemitwe mu Ddwaliro e Butabika abamujjanjaba nga basinziira mu makaage agasangibwa e Bombo.
Omwogezi wa UPDF Brig. Richard Karemire nga asinziira ku mukutu gwe ogwa Twitter bino byonna abisambazze nagamba nti tebilina mutwe na magulu nti kubanga nti kubanga nga amaggye tebakimanyiko yadde.
Agambye nti abantu tebasaanye kwesembereza kyayise olugambo olutambulira ku mikutu gya mawulire, nti era tebisaanye kweralikiriza bannaUganda.
Gen. Elwelu yayatikirira nnyo mu mwaka gwa 2016 bwe yadduumira abaselikale ne balumba olubiri lw’omusinga wa Rwenziruru Weasly Mumbere ne balukubako ebikompola ne balusaanyawo nga kwotadde nabamu ku bantu abaalimu.
Ono teyakoma okwo era yalagira basajja be ne bakwata Mumbere n’abaali bakulira obusinga abawerako ne baggalirwa mu makomera eg’enjawulo nga n’okutuusa kati bakyawerenemba ne misango mu makkooti eg’enjawulo.
Elwelu yavaayo mu lujjudde nagamba nti yali tayinza kwejjusa ku kintu kye yakola, nagamba nti yali amalawo ffujjo elyali likolebwa basajja ba Mumbere nga kwotadde n’obwanantagambwako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com