AKULIRA eby’enjigiriza mu Disitulikiti ye Mukono Godfrey Serwanja alaze obwetaavu eri abazadde nabo okuvaayo okuyambako baana babwe wakati mu kusalawo ku masomo ge bagenda okutwala mu mattendekero agawaggulu.
Ono agamba nti abaana bwe balekebwa okwesalirawo kibaviirako okulonda amasomo agatalina mulamwa, kyagamba nti kivaako ensimbi y’omuzadde okwononekera obwemage songa n’omwana olumu bwamala okusoma anoonya emirimu nga tagiraba.
“Mu by’enjigiriza byenduddemu twakizuula nti amasomo agamu tegakyalina makulu yadde emirimu mu ggwanga wano, abaana bambi basoma era nabazadde ne bawaayo ensimbi mpitirivu kyokka olumaliriza beesanga nga tebalina mirimu, nga kino kyava ku massomo gebelondera mu butamanya nga abaana.
Serwanja okwogera bino abadde asisinkanye bannamawulire mu makaage agasangibwa ku kyalo Butebe mu Munisipaari ye Mukono, Bwabadde ayozayoza muwala we Sandra Nakiberu eyayise ebigezo bya siniya ey’omukaaga era nga yafunye obubonero 16.
Nakiberu abadde asomera ku ssomero lya Seroma Christian High School elisangibwa e Kyetume Mukono, era nga ono agamba nti ayagala kufuuka Pulida ow’amaanyi mu Ggwanga nti kubanga alaba nti abantu bangi betaaga okumanya amateeka ne ddembe lyabwe, saako n’okulwanirira abanaku abatwaliddwako ebyabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com