ABAKULEMBEZE okuli owa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ne Paul Kagame owa Rwanda basisinkanye ku booda e Katuna okusobola okuteesa ku nsonga z’okuggulawo ensalo saako n’okwekeneenya wa we batuuse ku ntegeragana ze bassaako emikono mu Ggwanga lya Angola omwaka oguwedde.
Bano era basuubirwa okwogera ku nsonga y’okujja emisango ku bannaNsi ba mawanga gombiriri saako n’okubazza ku butaka bwabwe we bituuse.
Abakulembeze ba mawanga okuli owa Angola aeyatandika kawefube ono João Lourenço saako nowa Congo DRC Felix Tshisekedi bombi tebalutumidde mwana okusobolaokulaba nga buli kimu kiggwa bulungi.
Eby’okwerinda ku njuyi zombiriri bya bwerinde nnyo era nga nga bannamawulire ba mawanga gombiririr tebakkiriziddwa kwetaba saako n’okuwereza obuterevu ebigenda mu maaso.
Bakira ebifananyi bye basobodde okuwereza obwedda babba bibbe, nga bwe balinda entesaganya okuggwa olwo balyoke bayitibwe mu lukungaana lwabwe olugenda okutuuzibwa amangu ddala nga olukiiko lwa bakulu luwedde.
Rwanda yaddamu okuggala ensalo ku ludda lwa Uganda ku nkomerero y’omwaka oguwedde, yadde nga abakulembeze baali bamaze okutuula n’okukkiriziganya ziggulwe.
Pulezidenti Kagame azze alumiriza Uganda okubaako bannaNsi ba Rwanda be yaggalira kuno, era kino Gavumenti ya Uganda yakiddamu bwe yayimbula Abanyarwanda abasukka mu 15 nga omu ku kawefube w’okutuukiriza endagaano ye Luwanda
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com