OMUSUUBUZI Joachim Sendi 41 omutuuze w’okukyalo Lweza mu Muluka gwe Namumira alondeddwa bannakibiina kya Democratic Party DP okubakulembera mu kitundu kya Mukono Central Division.
Sendi okulondebwa kidiridde olukiiko lwe kibiina olwatudde ku Festino Cite mu Mukono ne basalawo okulonda Sendi addukanye ekibiina nga basemberera okulonda okubinda binda.
Ono agenda kumyukibwa Nsaba Peter saako ne Sekayiba Frank nga omuteesiteesi we kibiina mu massekati ga Mukono.
Nga amaze okutekebwamu obwesige Sendi yasuubizza okutandikira mu mulimu gwe yayise omunene ogw’okugatta bannakibiina abalabika mu kaseera kano nga betemyetemyemu.
Yagambye nti kawefube ono agenda kumutandikira mu kuyita bakulembeze bonna ne bannakibiina abalala, basalirea wamu amagezi butya bwe bagenda okukomya obukuubagano obuliwo ennaku zino mu kibiina bwe yagambye nti bulina okukomezebwa kubanga okulonda kutuuse ate nga baagala okuwangula buli kifo.
“Omulimu ogugenda okuddako kugenda kuba kwekeneenya saako n’okusunsula bannakibiina abasanidde okukwatira DP ebendera mu buli kifo kyonna okwetoloola Munisipaari ye Mukono era bonna tujja kubawagira awatali kusosola muntu yenna.
Empisa mu kibiina ku mulundi guno egenda kubeera nsonga nkulu nnyo kubanga abantu baffe ekimu ku kibaletedde enjawukana kwe kuba nti babadde tebeewa kitiibwa” Sendi bwe yagambye.
Yayongeddeko nti bagenda kukolera wamu okulaba nga bakunga abantu ba DP okusobola okuzza obuggya obwa memba mu kibiina nga bagula zi kaadi ku nsimbi 1000/= olwa Uganda.
Ono yazze mu kifo kya Jimmy Kalinda abadde Ssentebe okumala emyaka 5.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com