EBYA b’ekisinde kya People Power okwebuuza ku balonzi okwetolola e Ggwanga lyonna kuzzeemu omukoosi, oluvanyuma lwa Poliisi n’okutuusa kati okwelema okuddamu amabaluwa gaabwe agabakkiriza okutwala entekateeka yaabwe mu maaso.
Okusinziira ku mabaluwa gaabwe galaga nti ebula ennaku 2 okwebuuza kutandike nga bwe baatekateka okutandikira mu Kampala nga 24 omwezi guno.
Bano babadde baakutandikira wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba ku mande nga 24, kyokka nga n’okutuusa kati omuduumizi wa Poliisi tanaba kuddamu bbaluwa gye baamuwandiikira okubakkiriza bagende mu maaso.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya People Power ekisangibwa e Kamwokya, Omwogezi we Kisinde kino Joel Senyonyi agambye nti bawandikidde abakulu mu poliisi emirundi 2 nga babategeeza nga bwe baddamu okukola entekateeka empya ez’okutambuza enkungaana zaabwe okwetoloola e Ggwanga lyonna, nti kyokka ekibewunyisa tebanafuna kuddibwamu.
Ategezezza nti babawandikira nga ennaku z’omwezi 14. 02.2020 nga bayita mu ba Puliida baabwe ba Lukwago & co.Advocates nga babajjukiza ku nsonga yeemu era tebafunanga kuddibwamu.
Kawefube w’okwogera n’omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga kukyagudde butaka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com