OMULAMUZI wa kkooti enkulu mu Kampala Peter Odonyo akombye kw’erima najungulula ebyasalibwawo mulamuzi munne mu kkooti ento mu musango gw’okukozesa obubi ekyuma ki kali magezi ogubadde gwasinga eyali omusomesa we Makerere era omulwanirizi we ddembe lya bakyala kayingo Dr. Stella Nyanzi.
Kkooti eno era elagidde ayimbulwe mangu kubanga emisango egyamusibya gitunuddwamu nga yali asobola okujejeerera.
Nnyazi yali yaggalirwa mu kkomera e Luzira mu mwezi gwe kkumi n’ogumu omwaka 2018, ku misango gy’okukozesa obubi kkompyuta nabaako ebigambo bye yakozesa nga bityoboola omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni nga kwotadde ne Maama we omugenzi Esteri Kokundeka.
Oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango omulamuzi Gladys Kamasanyu ba Puliida be baasalawo okujulira mu kkooti enkulu, nga bagamba nti omuntu waabwe teyawulizibwa mu mazima na bwenkanya.
Omulamuzi Odonyo olwaleero asazeewo nti Kkooti y’okuluguudo Buganda terina yadde omujulizi gwe yaleeta okulumiriza Nyanzi, bwatyo nasanga nga kituufu waaliwo kyekubiira mu nsalawo y’omulamuzi Kamasanyu era omusango nagumujjako.
Kino kitegeeza nti kati Stella Nnyanzi talina musango gwali gumusinzeeko mu kkooti yonna, era waddembe okwesogga eby’obufuzi avuganye mu kifo kyonna kyayagala nga teri amukuba ku mukono.
Kigambibwa nti ono agenda kuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala akiikirira ekibuga kye Kampala mu Palimenti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com