ABABAKA ba palimenti abaali batandika kawefube w’okujjamu Minisita we by’okwerinda Gen. Elly Tumwine obwesige kyadaaki bamaze ne bapondooka, nga entabwe evudde ku kuba nti emikono egyetagisa okukikola gibalemeredde okuweza.
Omubaka Mbwatekamwa Gafa owe Ssaza lye Kasambya ye yali yatandika kawefube ono saako ne babaka banne okuli Theodral Sekikubo, Allan Sewanyana nabalala.
Wabula olunaku lw’okusatu Mbwatekamwa yategezezza nti asazeewo kawefube ono okumujjamu enta nga agamba nti Babaka banne balabika babaliddemu olukwe olwensonga nti baaganye okussa emikono ku kiwandiiko kino, nga kitegeeza nti teri kisobola kugenda mu maaso nga tebafunye bantu bakiwagidde.
“Babaka banaffe ekyamazima batulaze omutima gwe tubadde tutasuubira kubanga twalowooza nti bagenda kutuwagira olw’ensonga nti nabo babadde bamanyi ebikolwa bya Minisita Tumwine eby’okuyisa olugaayu mu Palimenti, naddala nga ku ku nsonga ezikwata ku ddembe ly’obuntu, kyokka kitwewunyisizza bonna okufuuka kyesirikidde” mbwatekamwa bwe yagambye.
Kinajjukirwa ku lunaku lwa Mmande omukulembeze we Ggwanga yayita ababaka ba kabondo ka NRM mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe ne babaako bye boogera ku nsonga ezaali zigenda mu maaso mu Ggwanga, okwali ne zikwata ku kujjamu Minisita Tumwine obwesige.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com