WABADDEWO akanyolagano ku kitebe kya Vision Group mu Kampala ku makya g’olwokusatu kkansala akiikirira Kawempe ku lukiiko lwa KCCA Muhammad Ssegirinya bwalwanaganye n’omuyimbi ennaku zino eyeyita omuyambi wa Pulezidenti Jenifer Nakanguubi amanyiddwanga Full Figure okukkakana nga abakozi ba ttivvi ya Bukedde be babatasizza.
Olunaku lwe ggulo nga asinziira ku mukutu gwe ogwa Face Book Ssegirinya yakunze abantu okukeerera ku ttivvi ya Bukedde bamwegeke amaaso n’amatu nti kubanga yabadde agenda kulabikako ku pulogulaamu ye Kyenkya ewerezebwa ku makya, nti era yabadde alina ensonga enkulu zagenda okwogerako eri e Ggwanga.
Wabula ono olumaze okwogera abadde afuluma wabweru nagasimbagana ne Full Figure abadde awerekeddwako omutegesi we bivvulu Olim Charles amanyiddwanga Sipapa nga baamulinze dda okwekwata amataayi we kutandikidde.
Bano banyolaganye okumala akaseera nga bwe beelangira okulya ensimbi za Museveni nga kwotadde n’okwesaba omukwano.
Bino byonna nga bigenda mu maaso Full figure abadde ategeeza Ssegirinya nti alekere awo okuvuma Pulezidenti Museveni nti kubanga gyasiiba nga asabiriza sente ate bwadda mu bantu natandika okumuvuma.
“Ssegirinya ne bano sigenda kuddamu kubakkiriza kuvuma mukulembeze wa Ggwanga kubanga ewuwe gye musiiba nga mumusabiriza ensimbi ate bwe mudda mu bantu ne mumwogerera ebigambo ebimukyayisa” Full Figure bwagambye.
Bakira musajja wattu Segirinya agezaako okumuddamu nga bwamugamba nti mwanyinaze ndeka, awo Full Figure wakamutemedde nti takyali mwanyina okuva lwe yamusaba omukwano.
Abalengerera ebintu ewala balaze nti Full Figure alabika atandikidde ddala okukola omulimu ogwamutwaza ew’omukulembeze we Ggwanga nti kubanga Museveni asisinkana abantu bangi abali ku ludda oluvuganya Gavumenti era nabawa ne nsimbi, nti ate bwe badda mu bantu ne bamusiiga ebitoomi nga nre kigendererwa eky’okumukyayisa bbo bayiseewo ebyabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com