OMUKULEMBEZE we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayise ababaka b’akabondo ka NRM bunnambiro basobole okusooka okwogera ku nsonga ennaku zino ezibagulumbya mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Mu zimu ku nsonga ezisuubirwa okwogerwako mulimu eya Minisita we by’okwerinda Gen. Elly Tumwine, nga ono Ababaka wiiki ewedde baatandika kawefube w’okuteeka emikono ku kiwandiiko basobole okumujjamu obwesige nga entabwe eva ku kulemesa Babaka abatuula ku kakiiko ke ddembe ly’obuntu okumulumiriza nti ye yabalemesa okutuuka mu bifo wagambibwa okutulugunyizibwa abantu.
Ono era Ababaka bamulumiriza okubayisaamu amaasobuli lwe baamuyitanga okulabikako mu kakiiko kaabwe, nga bagamba nti yasukka okwemanya nga kwotadde n’okubalaata.
Ensonga endala ye mbeera mu byenjigiriza eyaletebwa omwaka guno Minisita we byenjigiriza ne kigendererwa eky’okukyusaamu kko mu nsoma ya bayizi mu massomero, Ababaka nayo gye baagoba nga bagamba nti yali tenategekebwa bulungi nti era wandiba nga waaliwo okupapa.
Kino era kyaviirako Omukubiliza wa Palimenti Rebecca Kadaga okuyita Minisita we by’enjigiriza Janet Kataha Museveni ajje anyonyole ku bikwata ku nkola eno sabiiti eno.
Zino ze zimu ku nsonga ezisinze okukaka omukulembeze we Ggwanga era nga ye Ssentebe we kibiina ekiri mu buyinza okuyita ababaka basooke bazigaayemu kko nga tebanadda mu Palimenti kusalawo ku zo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com