OMULABIRIZI w’obulabirizi bwe Mukono kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala asomozezza Poliisi n’abebyokwerinda abalala okuvaayo okunyonyola bannaUganda baani ab’efunyiridde okuwamba abantu.
Omulabirizi agamba nti omuze gw’okuwamba n’okutta abantu gufuuse baana baliwo kyokka nga ebitongole bye by’okwerinda bilina buli kimu ekibisobozesa okukomya ebikolwa bino.
“Gye buvuddeko abakulu mu Gavumenti yaffe balagiriza kkamera z’okunguudo era ne zijja, kyokka kitwewunyisa nti abanyazi n’abatemu baziyitamu oluvanyuma lw’okukola ebikolobero nga abazikolako beebase, bano basaana okukangavvulwa kubanga bababalagajjalidde omulimu gwabwe” Omulabirizi bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde asisinkanye bannamawulire mu offiisi ye esangibwa ku kitebe ky’obulabirizi e Mukono ku lw’okuna.
Yagambye nti nga bannadiini kibenyamiza okulaba nga abamenyi ba mateeka ate kati obwanga babwolekezza bawereza ba Katonda, nawa eky’okulabirako abatamanya ngamba abawamba omwawule Rev. Isaac Mwesigwa nagamba nti wateekwa okubaawo ekikolebwa okulaba nga ebikolwa bino bikomezebwa bunnambiro.
Yakalatidde abakulu mu bitongole by’okwerinda bulijjo okuvangayo namaanyi banoonyereze era bakwate abakyamu abo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com