MUNNADIINI abadde agambibwa okuba nti yabuzibwawo abantu abatategerekeka kyadaaki azuuliddwa nga mulamu mu bitundu bye Soroti.
Rev. Isaac Mwesigwa nga emirimu gy’obusumba agikakkalabiza mu bitundu bye Kasaka mu Gomba, yabuzibwawo ku lunaku lwa Sande, nga kigambibwa nti abantu baamuteega ne bamukiika emmotoka mu bitundu bye Misindye e Mukono bwe yali agenda ku Yunivasite ya UCU gyasomera.
Okuva olwo abantu be babadde bamunoonya era nga bategeezaako ne ku Poliisi ye Seeta saako ne Mukono, oluvanyuma lw’okuzuula emmotoka ye eyekika kya Raum mu bitundu bye Sonde okumpi ne we baamuwambira netwalibwa ku Poliisi ye Mukono.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke owoyesigyire agambye nti ono bamuzudde mu bitundu bye Soroti, oluvanyuma lw’okukola okunonyereza okwamaanyi.
Agambye nti bagenda kumukomyawo mu Kampala ababuulire byonna ebyamutuukako, olwo Poliisi egende mu maaso n’okunoonyereza kwayo mu bujjuvu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com