ENZIGE ezibadde ziwulirwa obuwulizi mu mawanga agatulinaanye, kyadaaki zigobye mu kitundu kya Karamoja era nga zitandise okusaanyawo ebirime mu kitundu kino.
Abatuuze naddala abalimi bali mu kutya mu kiseera kino olwe nsonga nti zino zandisanyawo ebilime byabwe bye babadde bataddemu amaanyi ne nsimbi empitirivu.
Zino kigambibwa nti zaayingidde ku ssande nga ziyita mu kitundu kya Amudat nga ziva mu Ggwanga lya Kenya awali bannansi abe Ggwanga lya Pokot, era nga kati zituuse ne mu bitundu omuli Nabilatuk ne Nakapiripiti mu Karamoja eyawamu.
Wabula yadde nga Gavumenti olwaleero evuddeyo n’esindika ebomba ze ddagala 2000 saako ne liita ze ddagala eziwerera ddala 18,000 okusobola okuzitta, kyokka abatuuze abakoseddwa enzige basazeewo okwelwanako nga bazikasukira amayinja nga abagezaako okugoba obunyonyi mu muwemba nga ne Gavumenti bwejja.
Okusinziira ku mukungu mu minisitule ye bigwa bitalaze Martin Owor ategezezza nti basobodde okufuna Ebbomba ze bagenda okutambuliza ku tulakita nga zifuuyira enzige zino, era nga mu kiseera kino zimaze okutuuka e Karamoja.
Anyonyodde nti bagendanga kufuuyira mu biseera bya kumakya saako n’akawungeezi kubanga obudde bwe misana si kyangu ku zikwasa.
Amaggye n’abakozi be kitongole kye bisolo by’omunsiko nabo bagenda kuyambako ku bakozi ba Minisitule ye by’obulimi okusobola okulwanyisa enzige zino, okusobola okuzitangira obutasaanyawo birime nga bwe zikoze mu Ggwanga lya Kenya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com