OKUWULIRA omusango gw’okukuba amasasi omulwanirizi we ddembe lya baana Keneth Akena omusuubuzi w’omuKampala Mathew Kanyamunyu gwavunanibwa wamu ne Mugandawe Joseph Kanyamunyu nga kwotadde ne muganzi we Cynthia Munwangari kuzeemu olwaleero nga 4, ogw’okubiri mu kkooti enkulu mu Kamapala.
Bano baakwatibwa mu mwaka gwa 2016 ku bigambibwa nti batta Akena, oluvanyuma lwe bigambibwa nti nga tanafa yategeeza abasawo nti abamuleese mu ddwaliro be bantu be bamu era abaali beetabye mu kumukuba amasasi, bwe yakalabula emmotoka yabwe mu kifo awasimbibwa emmotoka ku kizimbe kya Lugogo Mall mu Kampala.
Ekyamazima kiri nti Kanyamunyu ne Cynthia be batwala Akena ku ddwaliro lya Victoria Clinic, ne bamwongerayo e Nakasero Hospital, gye bamujja ne bamwongerayo ku ddwaliro lya Norvick gye yafiira.
Olwaleero omusango gutandise mu maaso g’omulamuzi Charles Mubiru, era asoose kuwuliriza mujulizi ow’omukaaga Ruth Akode nga ono mutunzi wa binyebwa mu bitundu bye Nakawa ne Kyadondo, ategezezza kkooti nti yalaba omusajja (Kanyamunyu) nga ali wamu n’omukyala ( Munwangari) nga basitula omusajja (Akena) okumutwala mu mmotoka yabwe eyali eyekika kya Land Cruiser era ne bavuga nga badda e Kampala.
Bwabuziddwa oba abadde akyajjukira ennamba ye mmotoka gye yalaba agambye nti teyajetegereza okujjako ajjukira nti yalaba Kanyamunyu ne Munwangari.
Omujulizi azeeko abadde muganda w’omugenzi John Paul Nyeko agambye nti Akena nga tanakubwa masasi baali balina okusisinkana mu bitundu bye kisaawe kya Rugby e Kyadondo ku ssawa 12 wamu ne muganda waabwe omulala amanyiddwa nga Jordan.
Ategezezza nti yakanda kulinda nga Akena tatuuka kwe kusalawo amukubireko ku ssimu nga teriiko, wabula aba akyali awo agenda okulaba nga Jordana amaukubira namutegeeza nto yali afunye essimu okuva mu ddawaliro e Nakasero nga emutegeeza nti muganda waabwe yali awereddwa ekitanda, aba akyali awo ate agenda okulaba nga addamu amukubira namugamba nti Akena akubiddwa amasasi.
Ayongeddeko nti Jordan yamusaba asooke agende e Lugogo alabe oba wabaddewo omuntu akubiddwa amasasi, era nagendayo nabuuza akulira Poliis yaawo ekibaddewo namutegeeza nti talina kyabadde amanyi.
Amangu ago yasalawo okudduka agende mu ddwaliro e Nakasero eno gye yasanga omwami oluvanyuma gwe yategeera nga ye Mathew Kanyamunyu eyamusasira olwe byali bituuse ku mugandawe era namutegeeza nti abaddewo nga bakuba Akena amasasi e Kyadondo, ye kye yagaana kubanga gye yali mu kiseera ekyo.
“Samuwuliriza nnyo neeyongerayo okulaba ogubadde ku Keneth mu kasenge gye yali atereddwa era olwali okumutuukako ne mubuuza nti KENO kiki? yanziramu nti PAPA bankubye amasasi ku Game ssi Kyadondo, era yantegeeza nti yali awulira nga agenda kufa ne mugumya nti abasawo bakola ekisoboka okutaasa obulamu bwe.
Nyeko ayongedde nategeeza kkooti nti nga wayise akaseera katono Akena yazirika ne bamutwala mu kisenge gye balongoseza abasawo ne bamukolako, kyokka naggibwayo olw’okuba ekifo kyali kijjudde nnyo ne bamutwala ku Ddwaliro lya Norvick gye yafiira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com