WABADDEWO katemba ku ssomero ly’abawala elye Nabisunsa ku makya ga mande, omukulu we ssomero bwasazeewo okwekweka ne byava mu bigezo bya S.4 nga agamba nti waliwo abazadde baabadde akyabanja.
Kino kijje abazadde mu mbeera ababadde bazze okukima ebigezo bya baana baabwe, era ne batiisatiisa okwekalakaasa singa takomawo.
Kigambibwa nti Hajjat Zulaika Kabuye nga ye mukulu we ssomero lya Nabisunsa, aliko abazadde be yalaarika nti tagenda kubawa bigezo olw’okuba yaliko ensimbi ze yali akyabanja, okuva mu bayizi abatuula ekibiina ky’okuna omwaka 2019.
Kitegerekese nti abayizi 248 be baatula ebigezo mu siniya ey’okuna era 186 ne bayitira mu ddaala elisooka, nga omuwendo gwa bayizi ababanjibwa tebanategerekeka.
Okusinziira ku bazadde ababadde bakimye ebyava mu bigezo bya baana babwe bategezezza nti, Omukulu we ssomero yabayita nga 03 ku mmande kyokka ekibajje enviiri ku mutwe kwe kuba nga ate olutuuse ku ssomero okumunoonya nga talabikako ekibajje mu mbeera.
Ono era bamulumiriza okwekobaana ne kitongole kye bigezo okugaana okulaga abayizi ebyava mu bigezo nga bakozesa amasimu, kye bagambye nti tekibadde kya buvunanyizibwa.
Oluvanyuma akulira ebyensoma e Nabisunsa akkirizza okutimba olukalala lwe byava mu bigezo, kyokka nategeeza abazadde nti empapula baakuzifuna ku lw’okubiri, eky’ongedde okubajja mu buntu.
Bongedde ne bagamba nti essomero lino libakoze bubi era bangi kubo basazeewo kunonyeza baana baabwe massomero malala.
Ye Hajjati Zulaika Kabuye tafunise kubaako kyayogera ku nsonga eno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com