KKOOTI y’okuluguudo Buganda egobye omusango ogubadde guvunanibwa omuvubuka Brian Isiko omuyizi mu Ttendekero lya YMCA ettabi lye Jinja, abadde avunanibwa okwetayirira omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kabalore Sylivia Rwabwogo nga amusaba omukwano.
Omubaka Rwabwogo omusango guno yali yaguwaaba mu mwaka mu mwaka gwa 2018, nga agamba nti Isiko yali amumazeeko emirembe olw’okumusindikiranga obubaka obumusaba omukwano okumala omwaka mulamba.
Mu mwezi gw’omusanvu omwaka gwa 2018 Isiko yasingisibwa omusango guno era nasindikibwa mu kkomera ekkulu e Luzira yeebakeyo emyaka 2, kyokka naajulira ku kibonerezo ekyali kimuwereddwa, era kkooti nesalawo okuddamu okuwulira omusango mu kkoti ejulirwamu.
Oluvanyuma omulamuzi yakkiriza Isiko okweyimirirwa awoze nga ava bweru kyabadde akola entakera.
Olwaleero nga 3, 02.2020 omulamuzi Stella Amabilis atuuzizza Kkooti era nasalawo okugoba omusango guno nga yesigama ku nsonga zino wammanga.
Agambye nti omujulizi Hon. Rwabwogo bulijjo abadde emilundi gyonna takyajja mu kkoti ekilaze nti alabika takyalina makulu mu musango.
Agambye nti asazeewo okuggya ku Isiko omusango era atambule nga talina amukuba ku mukono okujjako nga alina emisango emilala egimuvunanibwa, era nalagira ne nsimbi ze yawayo nga akakalu ka kkooti 1.000.000/= zimuddizibwe.
Gyebuvuddeko kkooti yawereza Omubaka Rwabwogo ebbaluwa alabikeko mu kkooti nga omusango gwe yawaba guwulirizibwa, kyokka natalabikako eky’ongedde okuwa omulamuzi obukakafu nti eby’omusango yabivaako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com