MINISITA w’ebyentambula ne nguudo Gen. Edward Katumba Wamala asabye abagoba ba zi Takisi mu kitundu kya Kampala ne miriraano obutetantala kulwanyisa zi Baasi ezigenda okutandika okukola mu mwezi gw’omwenda omwaka guno, nagamba nti nga Gavumenti bagenda kukola ekyetaagisa okulaba nga babafunira emirimu kwejo egigenda okutondebwawo.
Katumba agamba nti tebayinza kuleka bbali bagoba ba zi Takisi abakola kati, kubanga be bantu abasinga okutegeera omulimu guno obulungi, kyagamba nti ne mu zi Baasi asuubira nti bagenda kukola bulungi okusobola okulongoosa ebyentambula mu Kampala ne miriraano ebibadde bifuuse ebizibu olw’akalippagano ke bidduka akayitiridde.
Okwogera bino abadde Kansanga ku Ttendekero lya International University of East Africa bwabadde aggulawo olukiiko olw’ategekeddwa aba kkampuni ya Tondeka, nga bano be bagenda okuddukanya zi Baasi ezigenda okujja mu ggwanga okusobola okugonjoola eby’entambula, olwetabyemu abantu ne bitongole ebivunanyizibwa ku bye ntambula mu Ggwanga.
“Baganda baffe aba zi takisi yonna mu bibiina ebibagatta nsaba mubeere bagumu, teri agenda kubajjako mirimu gyammwe, mwe mugenda okusigala nga mukola ne mu zi baasi zino kubanga omulimu gw’okutambuza abantu mwe musinga okugutegeera.
Twagala mubeere abantu balungi, mufune ebisanyizo ebibasobozesa okukola omulimu guno, kubanga Baasi tuzetaaga nnyo tetwagala zifiira ate namwe tubetaaga, era tugenda kukolaganira wamu ne kitongole kyaffe ekikola ku biwandiiko ebibakkiriza okuvuga emmotoka e Kyambogo basobole okubayamba okufuna ebiwandiiko ebituufu tukolerere wamu okutereza omulimu gwe ntambula mu Kampala” Katumba bwe yagambye.
Fred Sennoga omukugu mu bye ntambula bwe yabadde awa okunonyereza kwe ku ntambula mu Kampala ne miriraano yagambye nti ebitundu 20 ku buli 100 ebyakalippagano akabeera mu kibuga kaletebwa zi Takisi, naye ebitundu 80 ebisigaddewo biletebwa abantu abangi abakozesa emmotoka za buyonjo, nga ogenda okwesanga nga mu maka ga mulundi gumu muvaamu emmotoka ezisoba mu ssatu buli lunaku, nagamba nti ssinga baasi zijja ate nga zanguwako tewali ajja kuddamu kukaaba kalippagano n’akamu.
Mustafa Mayambala nga ono yakulira abagoba ba zi Takisi mu Ggwanga yalaze okutya eri bannanyi Takisi abamu be yayogeddeko nti bano balina zi looni ze baasaba mu ma bbanka ag’enjawulo ne bagula zi takisi okusobola okukyusa obulamu, nagamba nti enkola ya Baasi bwe natandika beetaaga okutunulamu okulaba engeri gye bayinza okuyambibwa baleme okufiirwa .
Yanyonyodde nti nga abagoba ba Takisi tebasobola kulwanyisa nkola ya baasi singa wabaawo okukkaanya abantu baabwe ne babafunira emirimu kubanga ebyentambula babitegeera bulungi.
“Tubasaba ensonga y’obuyigirize mu bagoba ba zi baasi eleme kutekebwako nnyo ssira kubanga ba Ddereva baffe abasinga tebasoma, kyaokka nga emirimu bamanyi okugikola n’obwegendereza ate n’obwesimbu” Mayambala bwe yagambye.
Akola nga Ssenkulu we kibuga kye Kampala Eng. Andrew Kitaka yeyamye okukola ku nguudo zonna eziyingira saako n’okufuluma mu Kibuga Kampala, okusobozesa zi Baasi empya okutambuza abantu obulungi.
Dr. Peter Kimbowa akulira olukiiko lwa Tondeka olw’okuntikko yagambye nti bagenda kusooka kuleetayo zi baasi eziwerera ddala 400 mu mwezi gw’omwenda omwaka guno, awo bongereyo 200 buli mwezi okulaba nga buli kifo kifuna entambula eyamangu.
Agamba nti bagenda kuba nga bakwata nnyo obudde, nga kwotadde ebisale okuba ebitono ddala nga buli muntu agenda kusasuliranga ku kaadi, era nga buli wiiki omuntu ajja kusasulanga 18000/=, omwezi 55000/= okukutambuza wonna wooba oyagala okugenda mu kampala ne miriraano.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com