ALICE Namulwa Mukasa nga ye nnyina wa eyali omubaka wa Butaleja omugenzi kati Cerina Nebanda avuddeyo `ne yegaana ebigambo by’abadde Minisita wa ICT era omubaka omukyala owe Kayunga mu Palimenti Aidah Nantaba bye yayogedde ku lw’okusatu mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu nga agamba nti ye (Namulwa) yamubuulira abatta omwana we.
Ono agamba nti ebyo tabimanyi era takubirangako mubaka Nantaba ku ssimu yonna nga amugamba ekintu kyonna ekikwata ku mwana we omugenzi Cerina, nagamba nti kilabika Nantaba ayagala kukozesa Famire yaabwe okusobola okulwana entalo ze nga omuntu.
Kinajjukirwa nti Nnantaba bwe yali mu Palimenti ku lw’okubri yagamba nti waliwo abantu abamuyigganya okuva mu kitongole kya Poliisi ye Ggwanga nti era yali afunye akasimu okuva ewa maama w’eyali omubaka omugenzi kati Cerina Nebanda nga amubuulira nti abatta omwana we era be baagala okumutta.
Yagamba nti yatya nnyo era naagenda mu maaso ne yeebuuza ani yali amuwadde ennamba ye ssimu ye kubanga era yali amugambye afune akadde agendeyo omunyonyole ebikwata ku bantu abo kyokka natagendayo.
Wabula ku lw’okuna Namulwa yayise olukiiko lwa bannamawulire bino byonna n’abyegaana nga gamba nti bigendereddwamu kumwononera linnya saako ne famire ye.
Okusinziira ku bbaluwa gyawandikidde omukubiriza w’olukiikolwe Ggwanga olukulu Rebecca Kadaga, Namulwa ategezezza Nnantaba nti kimukoze bubi kubanga abadde tamumanyi yadde okubaako ekibakwataganya mu bulamu, namulabula akomye okumuteeka mu bintu bye byayise eby’obufuzi bya Katemba ate ebye kito.
“Nze sijja kubeera kitundu ku byabufuzi byoyolesa eby’ekito, era mu lujjudde nkwejjako kubanga sikumanyi, naddala nga oyagala okunteeka mu bukubagano ne Gavumenti ya Uganda olwe bigendererwa byo bye simanyi” Namulwa bwagambye.
Anyonyodde nti ayagala Nantaba ajjewo kyayise enziro gye yamusiize nga ayita mu mpapula za mawulire saako ne mikutu emilala era agatteko n’okuddayo mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu gye yabyogeredde obutasukka nga 28.01.2020 ku lw’okubiri olujja, nga bwanalemwa okukola ekyo amaze okulagira ba Puliida ba Famire ye baggule ku Nantaba emisango.
Mu kiseera kino Nantaba tanabaako kyaddamu ku nsonga zino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com