AKULIRA akakiiko ke by’okulonda mu kibiina kya NRM Dr. Tanga Odoi alabudde bannaUganda okukomya okuyisa amaaso mu bayimbi naddala abo abatandise okwetaba obuterevu mu by’obufuzi.
“Abavubuka abo bagezi nnyo era abasinga kubo baasoma, abalala nabasomesaako e Makerere mbamanyi bantu ba buvunanyizibwa abatetaaga kuyisaamu maaso yadde nakamu.
Okugeza mutabani wange Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine mulenzi mugezi nnyo era nandyagadde atwegatteko mu NRM kubanga kati twetaaga abavubuka abagezi nga ye tusobole okutwala e Ggwanga mu maaso.
Mutabani wange omulala Moses Ssali Bebe Cool naye musajja mugezi nnyo bwaba ayogera ku nsonga ze Ggwanga n’okwewunya neewunya kubanga naye nali sikimusuubiramu, era asingira ddala bannabyabufuzi bangi wano mu Ggwanga abeeyita ab’omutawana okukubaganya ebirowoozo.
Bwe batyo ne banabwe abalala bangi bonna balungi nnyo okusinziira ne ku nnyimba ze bayimba ezibaamu obubaka obwenjawulo” Tanga Odoi bwe yagambye.
Okwogera bino abadde ku ttivvi ya NBS ku lw’okusatu bwabadde ayogera ku mbeera ne by’obufuzi nga bwe bitambula mu ggwanga nga lilindirira okulonda okubinda binda mu mwaka gwa 2021.
Ayongeddeko nti abayimbi abegatta ku kibiina kya NRM ennaku zino tebeetaaga kungoolebwa yadde okubayisa obubi kubanga balina eddembe lyabwe okuwagira ekibiina n’omuntu yenna gwe baagala awatali kuwalirizibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com