OMUWABUZI wa Pulezidenti ku nsonga za mawulire Joseph Tamale Mirundi alayidde nga ennaku zino bwe yava ku mwenge, nagamba nti kino kyatuusa ne mukyala we amujjanjaba okugula akuuma akapima omwenge ke bakazaako erya kawunyemu okusobola okumukebera buli lwakomawo eka.
“Ennaku zino ab’ewange baanteega ku geeti nga nzizeeyo ne basooka banteekako akuuma ka kawunyemu balabe oba nyweddemu, nange kye nasalawo omwenge ennaku zino naguleka okusobola okufuna eddembe awaka saako n’okuwona obulungi” Mirundi bwe yagambye.
Mirundi okwasanguza kino abadde ku Pulogulamu ya One On One With Tamale Mirundi ebeera ku ttivvi ya NBS ku lw’okubiri.
Agambye nti ennaku zino abantu bamugamba nti agenda addamu okulabika obulungi okuva bwe yali omulwadde, nagamba nti kino kizzewo lwakuba nti omwenge yasalawo okusooka okuguleka kubanga n’abasawo bamupima nga ekibumba kye kilamu nnyo ekintu ekyamuzzaamu amaanyi.
Mu nkola ye ey’okulumba baayita ba mafiya Mirundi agambye nti eby’omubaka Theodral Sekikubo okusibwa era nabyo era be babilimu, nagamba nti oluvanyuma lw’okufuna akatale ke nnyama e bweru we Ggwanga (Abamafiya) baasalawo okuteekawo kalantini ku Nte olw’obulwadde bwa kalusu bwagamba nti tebuliiyo e Sembabule, nti wabula lino kkobaane lyabe okusobola okufuna sente bokka.
Anyonyodde nti abantu abo ekiro balabikako nga bagula ente mu kitundu mwe baalangira obulwadde bwa kalusu ku bbeyi entono ddala, nga ente enkulu bagigula emitwalo 400.000/= gyokka nagamba nti bannaUganda balina okwegendereza akabinja ako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com