POLIISI mu disitulikiti ye Mbale eliko abakungu be kibiina kyaa FDC 2 beekutte ku bigaambibwa nti babadde bagezaako okukuba olukungaana olututabadde mu mateeka.
Abakwatiddwa kuliko omukwanaganya we mirimu mu kibiina kya FDC Dennis Muhumuza ne Ssentebe wa FDC e Mbale Margret Wokuri, nga bano okukwatibwa basangiddwa ku makya ga mande nga boolekera mu kibangirizi ekisangibwa mu kitundu kye Namakwekwe ku nkingizzi ze kibuga kye Mbale, awabadde wategekeddwa olukungaana lwe kibiina kya FDC nga bazaguza okuweza emyaka 15 nga batambuza emirimu ne by’obufuzi.
Olukungaana luno lubadde lwategekeddwa abakulembeze okwogerako eri abawagizi be kibiina mu Mbale ne miriraano, saako n’okutema empenda butya bwe bagenda okwenyigira mu kulonda okubindabinda omwaka ogujja.
Omwogezi wa FDC Ibrahim Semujju Nganda akakasizza okukwatibwa kwa bakulembeze be kibiina kyabwe, nagamba nti emisango egibaguddwako teginamanyika.
Ye Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Mbale Robert Tukei ategezezza nti 2 babakutte era bakuumirwa ku kitebe kya Poliisi ye Mbale nga okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Mu kiseera kino Poliisi yetolodde ekifo kye kisaawe kye Namakwekwe okusobola okuziyiza banna FDC okukuba olukungaana okujjako nga bamaze okusaba olukusa okuva ku Poliisi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com