OLUVANYUMA lwe bigezo bye kibiina eky’omusavu okudda, abazadde n’abayizi mu massomero ag’enjawulo mu Disitulikiti ye Mukono, badduse za mbwa okutuuka ku massomero abaana baabwe gye babadde basomera okusobola okumanya butya bwe baakoze.
Twasobodde okutuukako mu massomero okuli Global Junior School elisangibwa ku kyali Ttakajjunge ku luguudo lwe Bugerere eno twasanze abayizi n’abazadde baaabwe baatuuse dda okulaba ebigezo bwe byagenze.
Omukulu we ssomero lino Sentongo Kato Anthony yagambye nti kuluno ebibuuzo abaana baabwe baabikoze bulungi nnyo kubanga baafunye abayizi abayitidde mu ddaala erisooka 208, kyagamba nti obuwanguzi bwavudde eri abazadde abayizi n’okusingira ddala abasomesa be yayogeddeko nga abakola obutebalira ne kigendererwa eky’okuyisa abaana be basomesa.
Omuyizi Muyeti Joel Bennhin eyasinze n’obubonero 4, yagamye nti ayagala nnyo okwegatta ku ssomero lye Buddo Kings Collage, era agamba nti agenda kuteeka nnyo essira ku masomo ga science kubanga ekirooto kye kufuuka Musawo ajjanjabe abantu obulwadde bwa sukaali.
Kisubi Palvinpike naye eyafunye obubonero 4 agamba nti obuwanguzi basomesa be n’abazadde baabubaddemu nnyo wakati, era nalaga obwetaavu bw’okwegatta ku ssomero lya Kings Collage Buddo asome oluvanyuma afuuke Yinginiya.
Ryan Mukiibi Serunjogi naye yafunye obubonero 5 era Jjajjawe Prossy Mayanja ono nga ye maama wa bayimbi okuli Jose Chameleon nabalala yamuleese kipayopayo ku ssomero okusobola okujaguliza awamu ne banne.
Mukiibi agamba nti abasomesa baamubereddewo nnyo era ne yebaza ne Jjajjawe okufaayo okumulabirira.
Bishop West Primary School
Ku ssomero lye kkanisa ya Uganda elimanyiddwanga Bishop West Primary School nga lino gye buvuddeko lyafuulibwa elyekisulo kyokka mu kawefube w’okutumbula eby’enjigiriza mu massomero ge kkanisa bayizi nayo baayise bulungi.
Bano okuli Musasizi Simon 8, Ndawula Daniel 11, Luwambya Shaban 8 ne Matayo Andrew 8.
Baabadde basanyufu byansusso okulaba nga ebigezo bikomyewo nga bayitidde waggulu.
Akulira eby’ensoma ku ssomero lino Samuel Isabirye yagambye nti okuva essomero lino bwe lyafuulibwa elye kisulo babadde bakolera ddala bulungi ne yeebaza abazadde n’abasomesa banne beyayogeddeko nga abakoze obutaweera okulaba nga abayizi bano basoma bulungi era ne bayita.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com