OMUSUMBA we Kkanisa ya House of Prayer Ministry esangibwa mu kitundu kye Makerere Kikoni mu Kampala ebigambo byandimwononekera olw’ebigambo ennaku zino byabuulira ebikwatagana ku bufumbo obutukuvu.
Ebigambo bino bino bugingo agamba nti ebimu tebili mu kitabo ekitukuvu Bayibuli nga agamba nti ebimu byagunjibwawo bantu buntu, era byagamba nti bilimu obubaka bwa Lusifa Sitaani.
Ebigambo bino bye byavuddeko n’omulabirizi wa West Akole Rt. Rev. Johnson Twinomujuni okutabuka nakulubuuta omukuku gwe bbaluwa nga ayanukula Bugingo saako n’okumwewunya bwaba ddala nga Mukulembeze wa diina awagira atya abafumbo okwawukana, n’obutessamu kitiibwa.
Kino era kitanudde n’akulira eby’empisa, obuntu bulamu ne Diini mu Minisitule ekwasisa empisa n’obuntu bulamu Rev. Canon Aaron Mwesigye nagamba nti Bugingo wakuyitibwa abitebye, okusinziira ku mbulira gyabulira mu kkanisa ye saako ne kumikutu gya mawulire gyagambye nti ewabya abakkiriza.
Agambye nti bagenda kukola ekyetagisa amangu ddala okuyimiriza embulira ye, nti kubanga bamaze okukila nti Bugingo bwe batamwanguyira wakugenda mu maaso n’okuwabya abantu.
“Tugenda mumuyita (Bugingo) era tugenda kulaba nga tussaawo obukuumi obwamaanyi nga kwotadde okutegeeza abakkiriza ensonga lwaki ayitiddwa, kubanga tetuyinza kuguumikiriza mbeera eno egenderera okujegawaza abantu bafuulibwe nga ekyaliwo mu mwaka gwa 2000 Kibwetere bwe yatta abantu ekyeyononero.
Rev. Mwesigye agambye nti Bugingo kati amulabanga endiga eyabula, era nti kati alabika takyalina mwoyo mutukuvu amulaga ekkubo ettuufu, kubanga ennaku zino afuba kufuna biwandiiko ebimwawukanya n’omukyala we gwe bagattibwa naye, nti era yeetaga kubudabuuda mu by’omwoyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com