SHEIK Muhammad Mutumba eyaggwa ku kibambulira ky’okuwasa musajja munne wiiki ewedde, ebigambo by’ongedde okumwononekera bwayimiriziddwa ku mirimu gy’okubuulira ekigambo kya Katonda mu muzikiti gwa Masjid Noor e Kyampisi mu Kayunga.
Kino kidiridde abakulembeze be diini y’obuyisiraamu mu Disitulikiti ye Kayunga okutuula ne basalawo nti omukulu ono tasanidde kwongera kubuulira kigambo kya katonda mu lujjudde.
Sheik Isa Busuulwa akulira abawereza mu muzikiti gwe Kyampisi agambye nti, basazeewo basooke basse Mutumba ku bbali anonyerezebweko, oluvanyuma lw’okufuna amawulire agabakanga wiiki ewedde.
Sheik Busuulwa anyonyodde nti yadde yeetaba mu ku mukolo gwa muwereza munne ogw’embaga, nti naye kyabewunyisa nti entekateeka endala zonna yazikolako yekka, era nga obukulembeze bw’omuzikiti gyakolera teyabategezaako ku bya mikolo milala wabula baalabira awo nga atandise okutegeka embaga nabo ne balyoka bamuyambako.
Wiiki ewedde abatuuze mu disitulikiti ye Kayunga baawawala amatu bwe baawulira nti munaabwe sheik Mutumba omugole gwe yali yakawasa akwatiddwa nga aliko ebintu byabbye okuva mu nju ya balirwana be.
Kino kyatabula baliranwa era ne beekubira enduulu ku poliisi eyakwata omugole Swabullah Nabukeera.
Kyokka ekyajja abaselikale enviiri ku mutwe kwe kugezaako okukebera Nabukeera eyali yebikkiridde mu nkola ye diini ye kiyisiramu ne bamusanga nga yali aliko ebigoye byatadde mu kifuba okulaga nti mabeere.
Wano abasilikale abakyala beewunya nnyo ne bamulagira ajjemu engoye zonna okugenda okumuzuula nga musajja awedde emirimu.
Beeyongerayo okumukunya ne bakizuula nti ye Richard Tumushabe atemera mu gy’obukulu 27, era ne bategeeza omwami we Mutumba eyali amuwerekeddeko ku Poliisi.
Oluvanyuma Mutumba yagwawo ekigwo okukizuula nti gwabadde ayita omukyala musajja, nanyonyola nti Nabukeera yamutegeeza mu wiiki 2 ze bamaze bonna abadde amugamba nga bwakyali mu nsonga za bakyala nga eby’okwegatta mu mukwano tabisobola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com