EBY’OBUFUZI mu kitundu ky’omumambuka ge Mukono by’ongedde okunyinyitira era kati abalonzi eludda eno batuula bufofofo nga balindirira ekiddako mu kulonda okubinda binda.
Ennaku zino buli w’oyita mu magombolola 2 okuli Nama ne Kyampisi agakola ekitundu kye mukono North naddala mu bitundu by’obubuga obukula, osanga abantu nga bali mu bukukuulu era emboozi esinga okw’ogerwako esinga eba ekwata ku Nsubuga na Kibuule.
Kino kyeyolekera mu bintu ebingi bye bafanaganya omuli okuba nti bonna bavubuka nga kwotadde n’okuba nti bonna bannaNRM lukulwe.
Munnamateeka Nsubuga twamutuukiridde mu makaage agasangibwa ku kyalo Katega ekisangibwa mu muluka gwe Kabembe mu gombolola ye Kyampisi, era natutegeeza ebimukwatako bwati;
Amannya gange ye nze Nsubuga Keneth Sebagayunga, nazalibwa nga ennaku z’omwezi 10.10.1984 ku kyalo Nakasajja Kyoga ekisangibwa mu gombolola ye Kyampisi.
Kitange anzaala ye Mwami Godfrey Nsubuga omutuuze we Seeta Goma, ate maama ye mugenzi Justine Namaganda Nsubuga, era nga mu kitange nze mwana ow’okubiri.
Okusoma kwa Nsubuga
Okusoma kwange nakutandikira mu ssomero lya Seeta C/U Primary School nga nina emyaka 5, eno oluvanyuma navaayo ne ngenda mu ssomero lya Seeta Boarding Primary gye natuulira ekibiina ky’omusanvu era nze omu ku bayizi abaasinga okukola obulungi omwaka ogwo.
Neegatta ku ssomero lya St. Stephens SS e Bweyogerere gye natuulira siniya ey’okuna saako ne y’omukaaga era ne mpita bulungi ne neeyongerayo mu Ttendekero ekkulu e Makerere mu mwaka gwa 2002 ne nkuguka mumateeka.
nga nakamala diguli yange mu mateeka neyongerayo ku LDC ne nkola Diploma yange enzikiriza okukola emirimu gyamateeka saako n’okukikirira abantu mu kooti (Legal Practice) mu mwaka gwa 2007.
Amangu ddala nga nakamala amateeka neeyongerayo era e Makerere ne nkola diguli endala mu by’obusuubuzi mu mwaka gwa 2009, olwali okugimaliriza ne neegatta ku ttendekero lya Dundee university mu Ggwanga lya Scortland gye namalira diguli yange ey’okubiri era ne nkuguka mu kutawulula enkaayana mu bantu ( Dispute resolution).
Bwe nakomawo mu Uganda natandika okukola ne kkampuni ya bannamateeka eya Katende Ssempeebwa & co. Advocates, gye nava ne neegatta ku kkamuni ya Kampala Associates Advocates, oluvanyuma gye nava ne ntandikawo kkampuni ya bannamateeka eyange emanyiddwanga KS Nsubuga & co. Advocates.
Naliko Puliida wa Disitulikti ye Mukono okumala emyaka 10 era nakola emirimu mingi okutuusa bwe nalekulira olwe mirimu emilala gye nali nfunye ate nga nali njagala okuwa offiisi yange obudde nga nkooye okukozesebwa.
Nsubuga ne by’obufuzi
Eby’obufuzi nabitandikira ddala nga nkyali muto mu Pulayimale kubanga mu ssomero lya Seeta Boarding nze nali akulira abaana abalenzi (Head Boy), ate ku ssomero lya St. Stephens naliko omukulembeze wa bayizi abalenzi okumala emyaka 2, ate oluvanyuma nalondebwa okubeera omukulembeze wa bayizi mu ssomero lyonna (Head Prefect).
Bwe nali e Makerere nze nali nkulira abayizi bonna baali basoma amateeka mu mwaka gwaffe, era mu mwaka gwa 2005 neegatta ku Major Kakooza Mutale n’omubaka Mohamad Nsereko ne tuwakanya enkola ye nfuga ye bibiina ebingi eyali eleteddwa ekiseera ekyo nga eggwanga liva mu nkola ey’omugendo.
Mu 2006 neegatta ku kibiina kya bavubuka ba NRM era ne neegatta ku mubaka Rose Namayanja eyali akulira okukunga abantu mu kunonyeza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akalulu nga ffe abaalinga ku ttiimu eyasookanga mu kifo olwo Omukulembeze najja nga twatuuse dda.
Ye nze Ssentebe w’ekyalo owe kibiina kya NRM wano e Katega we mpangaalira, ate mu ngeri yeemu nze Ssentebe w’omuluka gwe Kabembe owa NRM.
Navuganya mu kamyufu ke kibiina kya NRM okukiikirira ekitundu kya Mukono eya mabuka mu mwaka gwa 2016, era ebintu bwe bitagenda bulungi nakomawo ne nvuganya nga sirina kibiina era ne nkwata ekifo kyakubiri ku njawulo ya bululu 500 bwokka.
Naye kuluno era nkomyewo mu nsiike, era nga ndi mwetegefu okuvuganya mu kamyufu ke kibiina kya NRM, era nsuubira nti kuluno obuwanguzi tubulina.
Lwaki nesimbyewo
Njagala okulaba nga eby’obulamu mu kitundu kino bitumbulwa kubanga amalwaliro ge tulina geetaaga obugabirizi obulala okuva ku obwo Gavumenti bw’etekamu.
Oluvanyuma lw’okukizuula nti abaana bangi mu kitundu kyaffe bwe bamala ekibiina eky’omusanvu ne Siniya ey’okuna bakoma awo, njagala okufuba okulaba nga ntandikawo essomero lye bye mikono liyambeko abaana bano okufuna obukugu mu mirimu egy’enjawulo, oluvanyuma basobole okwetandikirawo eby’okukola beyimirizeewo.
Ebyemizannyo
Bwe mbadde ntambula mu kitundu kyonna nkizudde nti abaana bangi balina ebitone mu mizannyo ebyenjawulo, eby’etaaga okwongera okukwatako basobole nabo okuvaayo, era kati ndi mu ntekateeka ya kutandikawo ttiimu y’omupiira eya Consitituency nga eno tugenda kugilonda okuva mu ma ttiimu ge tutandiseewo mu miruka gyaffe ne ku byalo eby’enjawulo.
Eby’obulimi
Abantu baffe abasinga obungi mu kitundu kya Mukono North balimi, era nga bambi abaana baabwe babawererera ku nsimbi ziva mu birime bye batunda, naye nkizudde nti bano abasuubuzi babadondola nnyo ne batafuna bulungi mu byamaguzi byabwe, tugenda kufuba okunoonya obutale wano ne bweru we ggwanga saako n’okulaba nga basobola okwongera ku mutindo gwebyo bye balima okusobola okufunamu ensimbi ezegasa beekulakulanye.
Abavubuka
Abavubuka bangi mu kitundu kino, naye ate bangi kubo tebalina mirimu, kati nkizudde okusinziira bwe mbadde ntambula nabo nti beetaaga ntandikwa batandikewo obulimu obutonotono omuli obutembeeyi, okulima ne bilala.
Tujja kutekawo enkola nga oyo asobola okukola awolebwa ensimbi natandikawo omulimu ogusobola okumuyimirizaawo n’abomumakaage.
Era eddoboozi lya bantu be Mukono North lyetaagibwa okuwulikika mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu, nga nkyesigamya kukuba nti munange aliyo tawulikiseeko nnyo kyokka nga ebintu ebiluma ekitundu bingi ebyandikoleddwako oluvanyuma lw’okubyogerako” Nsubuga bwe yagambye.
Agamba nti yeegomba nnyo muzeeyi Bidandi Ssali nti era yoomu ku bantu abamuyingiza eby’obufuzi olwengeri gye yali akolamu emirimu gye ate nga ayagaliza nnyo ekitundu gye yali ava.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com