WABADDEWO Vvawo mpitewo nga poliisi ekwata omubaka we Ssaza lye Lwemiyaga mu Palimenti Theodral Sekikubo abadde akedde okukunga abatuuze baggulewo obutale bwe nte obwaggalwawo gye buvuddeko olw’obulwadde bwa kalusu.
Wano abapoliisi ababadde abakambwe we bamusaliddeko wamu n’abatuuze baabadde nabo era omukka ogubalagala saako n’amasasi bilabiddwako nga byesooza mu bbanga.
mu kusooka wabaddewo okuwanyisiganya ebigambo wakati w’omubaka Sekikubo ne Poliisi nga bagezaaako okumutangira okukuma mu bantu omuliro, kyokka oluvanyuma bakozesezza amaanyi ne bamukwata natwalibwa ku kitebe kya Poliisi e Masaka gyakuumirwa kati.
Bino we bijjidde nga omubaka Sekikubo yategeeza bannamawulire ku Palimenti nti waliwo obutali bumativu mu balunzi n’abasuubuzi be nte mu Sembabule olw’abakulira ebyamagana okuggalawo obutale okuli ake Lugusuulu, Kyemamba ne Rumegyere mu mwezi gw’omunaana omwaka ogaggwa nga n’okutuusa kati bakyeremye okubuggulawo kye yagamba nti lino lyandiba ekkobaane ly’okulemesa abalunzi n’abasuubuzi mu kitundu kyakiikirira okufuna ku nsimbi.
Sekikubo agamba nti obutale obulala obulinanyewo bwonna bukola nga yebuuza lwaki obumu bulekeddwa nga buggale ate nga ente ezisuubulwa zonna ziva mu kitundu kimu.
” Ffe kye twagala kwe kulaba nga abasuubuzi baffe n’abalunzi baganyulwa mu bye bakola sso ssi kusiba kalantini ku nte ate nga kalusu alabika yaggwayo dda” Sekikubo bwe yategezezza.
Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga agambye nti kituufu omubaka Sekikubo akwatiddwa era bamututte ku kitebe kya Poliisi ekikulu e Masaka, nagamba nti bagenda kumuggulako omusango gw’okukuma omuliro mu bantu bakozese amaanyi okuzza ente mu katale ate nga kaggalwawo abakugu mu kujjanjaba ebisolo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com